TOP

'Abakristu mukome okunoonya ebyamagero'

Added 5th July 2016

Msgr. Jjumba yasabye Abakristu okunywerera mu ddiini era beewala okugenda na buli kabiina ke babeera bawulidde nti kakola ebyamagero kuba bangi bye bayigiriza bikontana n’enjigiriza yaKlezia.

 Abantu abaagenze mu kusaba kw’okujjukira olunaku lw’omujulizi Kalooli Lwanga.

Abantu abaagenze mu kusaba kw’okujjukira olunaku lw’omujulizi Kalooli Lwanga.

Bya SSENNABULYA BAAGALAYINA

Abakrisitu mu Ssaza ly’e Masaka n’emiriraano abaalamaze ku kiggwa ky’omujulizi Kalooli Lwanga e Biriinzi baasabiddwa okukomya okutangatanga mu ddiini nti banoonya byamagero.

Okulamaga kuno okubaawo buli Ssande esooka mu mwezi gwa July, ku mulundi guno kwakulembeddwa ab’ekigo ky’e Kimaanya nga Mmisa yayimbiddwa omubeezi w’omusumba Msgr. Sylivest Jjumba nga baasonze ne ssente ez’okukulaakulanya ekifo kyabwe.

Abakristu baasabidde omusumba w’e Masaka, John Baptist Kaggwa, ajjanjabibwa obulwade bw’amaaso mu Amerika.

Essaala endala baaziweerezza mulamazi munnaabwe abadde tabasuulirira buli mwaka Col. Kiiza Besigye nga basaba Mukama amuvvuunuse emisango gy’aliko.

Msgr. Jjumba yasabye Abakristu okunywerera mu ddiini era beewala okugenda na buli kabiina ke babeera bawulidde nti kakola ebyamagero kuba bangi bye bayigiriza bikontana n’enjigiriza yaKlezia.

N’agamba nti waliwo abatagenda mu bubiina buno ate ne beeytunira amasabo n’agamba nti bano babeera mu busibe bwa sitaani bwe balina okuvaamu okusobola okufuna emirembe mu mutima era egyannama ddala.

Msgr. Jjumba awakanyizza ebyogerwa nti abantu bagwa mu kibi nga tebakimanyi n’agamba nti ekibi kyamanyibwa dda, n’abakigwamu bakigwamu mu bugenderevu n’abasaba beegayirire Kristu abajjuze mwoyo mutuukirivu bakisumululwemu.

N’agamba nti ekinaawonya abantu ekibi kwe kufuna obuswavu mu mitima ne bamannya nti kye bakola kikyamu era ne bakireka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...