TOP
  • Home
  • Masaka
  • Embeera y'eddwaaliro ly'e Kakuuto yeeraliikiriza

Embeera y'eddwaaliro ly'e Kakuuto yeeraliikiriza

Added 5th July 2016

ABALWADDE n’abajjanjabi mu ddwaaliro lya Kakuuto Health Center IV, balaajanidde Gavumenti ebayambe ku mujjuzo ogususse ogutuusizza abalwadde okusula ku kitanda ekimu.

 Embeera eri mu waadi z’eddwaliro ly’e Kakuuto.

Embeera eri mu waadi z’eddwaliro ly’e Kakuuto.

Bya JOHNBOSCO MULYOWA

ABALWADDE n’abajjanjabi mu ddwaaliro lya Kakuuto Health Center IV, balaajanidde Gavumenti ebayambe ku mujjuzo ogususse ogutuusizza abalwadde okusula ku kitanda ekimu.

Bagamba nti embeera eno ereetedde endwadde okusaasaana, okugeza omwana agenzeeyo ng’omusujja gwe gumuluma mu lunaku lumu olukusense luba lumukutte.

Omujjuzo gusinga kubeera mu waadi y’abaana n’abakyala ng’ekitanda ekimu bakissaako abaana basatu ng’ate ebibaluma tebifaanana.

Baategeezezza nti ng’oggyeeko omugotteko gw’ebitanda, n’eddagala mu ddwaaliro teririiyo ng’abasawo baliwandiikira abalwadde ne baligula wabweru w’eddwaaliro.

Abamu basobola okuligula kyokka waliwo bangi abatalina busobozi ne kibalemesa okuwona amangu.

Embeera eno yawalirizza abalokole abaakulembeddwaamu Rev. John Namutale owa Jubilee Revival Church ku nsalo e Mutukula okugendayo ne bagabira abalwadde ebikozesebwa omuli ssabbuuni, ssukaali, omunnyo n’ebirala.

Omubaka wa Kakuuto mu Palamenti, Christopher Kalemba yagambye nti eddwaaliro lino likozesebwa abantu bangi, ng’abamu bava mu disitulikiti y’e Isingiro n’abava e Tanzania n’asaba obuyambi bwe lifuna bwengerweko kuba abantu abalikozesa bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...