TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga eyagudde mu kidiba alese ekiraamo ekikambwe!

Omugagga eyagudde mu kidiba alese ekiraamo ekikambwe!

Added 5th July 2016

Omugenzi abadde yalaama nti basooke bamuteeke ku kisaawe olwo abasambi b'omupiira bagusambe ng'omulambo gwe weeguli, n'entaana ye esimwe mu maka ge era n'omulambo guteekebweko ebyomupiira.

 Omugenzi Musoke ng'aziikibwa

Omugenzi Musoke ng'aziikibwa

Bya Luke Kagiri  

Abakungubazi abaabadde bakung'anye okuziika munnaabwe bassatidde ab’ekika bwe babasomedde ekiraamo ky’omugenzi ekikakali, nga kino kibaddemu ebintu ebiwerako ebibadde bilina okukolebwa nga tannaziikibwa.  

Mu bino, omugenzi abadde yalaama nti basooke bamuteeke ku kisaawe olwo abasambi b'omupiira bagusambe ng'omulambo gwe weeguli, n'entaana ye esimwe mu maka ge era n'omulambo guteekebweko ebyomupiira.  

Bino byonna byakoleddwa omugenzi n'aziikibwa.  

 

Omugenzi ye Charles Musoke, abadde omulimi era omusuubuzi ow'amaanyi ku kyalo Nabwendo, ekiri mu ggombolola y'e Kikandwa, mu disitulikiiti y'e Mityana.  

Okusooka enfa y’omugenzi yeewuunyisizza abantu bangi era ne bakaaba amaziga.

Ono ku lunaku lwa Ssande, yagwa mu kidiba ky'amazzi n'afiiramu. Abatuuze be banyuluddeyo omulambo gwe.

Kino kyewunyisizza nnyo abatuuze kubanga Musoke abadde n'abakozi nga si y'abadde akima amazzi kyokka ku mulundi guno yagenze ku kidiba okukima amazzi baakomezzaawo mulamba.  

Abakungubazi abaabadde bakung'anye okuziika, baakabatemye nga omugenzi bwe yalaama nti bw'aba afudde balina kumuzika awo wennyini mu maka ge so ssi kutwalibwa ku biggya by'ekika.  

 

Mu kiraamo, omugenzi era yalagira nti omulambo gwe, gusooke gutwalibwe mu kisaawe, abazanyi bomupiira bazanye okumala eddaakiiko 90 olwo alyoke aziikibwe era kye kyakoleddwa.  

Oluvannyuma omulambo gwakomezeddwawo ne gusabirwa ku keesi ne kuteekebwako omujoozi n’omupiira omupya ttuku.  

Okusaba bwe kwawedde, abazanyi b'omupiira abaabadde mu emijoozi be baasitudde ssanduuke okujitwala emagombe.   Omu yakutte omupiira, omulala n'akwata omujoozi olwo n'owoomusalaba naye n'agoberera.  

Omugenzi Musoke nga bwabadde afaanana

 

Mu ntaana ye, waatekeddwayo omupiira n'emijoozi ejibadde emimyuufu.  Bino byewuunyisizza abakungubazi kyokka ne basiima ab'ekika olwokukiriza okutuukiriza ekiraamo ky'omugenzi.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...