TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tugenda kuzimbira abaserikale amayumba ag'omulembe - Gen. Kahiyura

Tugenda kuzimbira abaserikale amayumba ag'omulembe - Gen. Kahiyura

Added 6th July 2016

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura ategeezezza nga poliisi bw’egenda okutandika okuzimbira abaserikale baayo amayumba ag’omulembe mu bibangirizi ebiri mu bitebe bya poliisi zonna mu ggwanga.

 Kayihura (wakati ng’alambuzibwa Kasigire (ku ddyo) poliisi y’e Kira Road.

Kayihura (wakati ng’alambuzibwa Kasigire (ku ddyo) poliisi y’e Kira Road.

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura ategeezezza nga poliisi bw’egenda okutandika okuzimbira abaserikale baayo amayumba ag’omulembe mu bibangirizi ebiri mu bitebe bya poliisi zonna mu ggwanga.

Kayihura okwogera bino yabadde alambula poliisi ya Kira Road oluvannyuma lw’ekibiina ekimu eky’abalokole okuva mu kkanisa ya Mavuno Church esangibwa e Bukoto okwesowolayo ne basiiga ebizimbe bya poliisi ya Kira Road olw’amaanyi g’etaddemu okulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu kitundu.

Kayihura yasiimye abalokole bano n’ategeeza nti enjiri yaabwe yeetaaga okuwulirizibwa kuba tebakoma ku kubuulira bantu kigambo kya Mukama kyokka, wabula n’okuyamba abantu.

Oluvannyuma yalambuziddwa aduumira poliisi eno, SP Micheal Kasigire ebifo ebibadde ebibi wabula ne bayambibwako abebitongole ebirala okubiddaabiriza era wano we yategeerezza nti poliisi ngagga kuba erina ettaka kw’eyinza okuzimba ebizimbe ebyomulembe era n’akakasa nti enteekateeka eno bagitandiseeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...