TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Babakutte n'omwana mu ssabo ne bakubagana empawa

Babakutte n'omwana mu ssabo ne bakubagana empawa

Added 9th July 2016

Babakutte n'omwana mu ssabo ne bakubagana n'empawa

 Omukyala Apio agambibwa okutwala omwana mu ssabo

Omukyala Apio agambibwa okutwala omwana mu ssabo

 SSENGA abbye omwana n'amutwala mu ssabo okumusadaaka afune obugagga

Poliisi ye Kawempe ng’ekulembeddwamu  Hashim Kasinga ewonyezza omwana Jonathan Tumusiime abadde agenda okusaddaakibwa ssengawe  yefuniremu obuggagga nga bamukwatidde mu ssabo e Bwaise gy'abadde amututte.

Taata w’omwana Richard Tumusiime ne nnyina Naluzze ab'e Maganjo B bategeezezza nga mwayina Aisha Apio bweyagya ku mmande ku saawa emu eyakawungezi n’atandika okuzannyisa mutabani waabwe  era okuva olwo tebaddamu kumulaba okutuusa enkeera lwe bagenda ku poliisi ye Kawempe ne baggulawo omusango g’wokubba omwana .  

Poliisi yatandise okukola omuyiggo era eggulo omukyala Sarah Asiimwe kwe kutegeeza nga bweyalabye omukyala e Bwaise mu Muzigiti ng’alina omwana alabika obutabawuwe era omukyala ono yeyayambye poliisi okubatwala ku kazigo ka Apio bwasula eBwaise wabula nga taliiyo kwekumulimisa nebamukwata eggulo ku makya .

 Apio yabategeezezze nga ddala bweyabba omwaana wa mugandawe kubanga waliwo omusawo w’ekinnansi Sulaiman SSenyonga gye yagenda n’amusuubiza okumuwa obugagga bwayagala naye alina okuleeta omwana anakolanga saddaaka .  

Aisha yatutte poliisi mu ssabo lya Ssenyonga erisangibwa e Bwaise mu Lubigi ku luguudo lwa Northern bypass era ne basangamu abaana babiri nga kwekuli ne Jonathan Tumusiime eyabadde anonyezebwa era poliisi kwe kukwata Ssenyonga ne mussaako empingu n’emutwala ku poliisi n’emuggalira wakati mu lutalo nga Apio Alumiriza ssenyonga nga bweyamutuma saddaaka y’omuntu nga ye yewakana.        

SSsnyonga yategeezezza nga ye bwatayinza kusaddaaka mwana kubanga ye musajja muzadde ate wadde musawo muganda naye ye tasaddaaka bantu asaddaaka bisolo.

 Wabula Ssenyonga yewozezaako nga Apio bweyamuleetera omwana n’amumusuulira nti ye amuremeredde era naye kwekusalawo okugenda ku poliisi ye kawaala n’aggulawo omusango nga bwe bamusuulidde omwana kyokka bwabuziddwa akapapula kebaamuwa ng’agguddewo omusango nga takalina    

 Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango yategeezezza nga bwebazze okutaasa omwana Jonathan Tumusiime obutasaddaakibwa era bagenda kukola okunoonyereza oba nga ddala omusajja ono yabadde n’ekigendrerwa ky’okusadaaka omwana aggulweko omusango g’okugezaako okutta omuntu.

Onyango era yavumiridda ekya’Abantu okwagala ennyo okufuna eby’obugagga ate amangu era n’ategeeza nga ne Apio bweyaguddwako edda omusango g’okugezaako okutta omuntu mu bugenderevu ku fayiro namba SD REF 15/5/06/16  ku poliisi ye Kawempe .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...