TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze be Kawempe baagala Poliisi etunule mu tteeka erisiba abaana abato

Abatuuze be Kawempe baagala Poliisi etunule mu tteeka erisiba abaana abato

Added 12th July 2016

Abatuuze be Kawempe baagala Poliisi etunule mu tteeka erisiba abaana abato

 Abamu ku baana abaakwatiddwa mu bumenyi bw'amateeka

Abamu ku baana abaakwatiddwa mu bumenyi bw'amateeka

ABATUUZE mu bitundu by'e Kawempe balabudde bannaabwe  okukomya okutitiibya abaana baabwe nga bakwatiddwa mu bumenyi bw'amateeka.Embeera eno yawalirizza meeya, Emmanuel Sserunjoji okuyita abaana abatalina bazadde abafunire ebibiina ebiyinza okubayamba .

Kawempe ebyalo erimu zooni ezisoba mu 199 nga buli emu erina abaana  abatuuse okusoma kyokka nga tebasoma ekibaviriddeko okukwatagana n'ebibinja ebikyamu ne batandika okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka.

Kino kitabudde abatuuze nga bagamba nti abazadde babaana bano  tebatutte buvunaanyizibwa kubagunjula nga n'abamu kubbo baagifuula mpalana eri batuuze banaabwe olw'okubagambira ku baana .

Abaana okutandikira ku myaka 9 okudda wagula batambulira mu bibinja emisana n'ekiro bakwata abantu obubaddiya ,ng'abamu ku myaka gyabwe emito bakwata abawala abatambula ekiro , kyokka poliisi bwe kwatiira abaana bano mu bumenyi bw'amateeka abazadde bagendayo  ne batabuka.

Wiiki ewedde,   bamakanika mu galagi emu esangibwa e Makerere iii mu kawempe baakutte Baker Ssali (15) abeera mu Kiggundu zooni ng'abba  ebyuma ne bamukuba okutuusa poliisi  bwe yamutaasizza, bamakanika bano baategeezezza nti bawulira b'etamiddwa ebibinja by'abaana ebigenda mu magalagi gabwe ne bisumulula ebyuma ku mmotoka z'abakasitoma .

"Banange Kawempe alimu muzimu ki?,   ffe tuli mu mazzi , enjaga esibuuka Kawempe kati ate n'abaana batufuukidde ekizibu, wadde tuli bazadde naye tuwulira twetamiddwa okutubba ate abazadde bannanyini baana bano tebagambwako"  Abatuuze bwe baategeezezza

 Ssali yategeezezza nti ekimubisa  ye taata we okuba nga yafa ali mu P5 nga kati talina watandikira, baamukubye nga takyasobola kutambula ekyawalirizza poliisi okumutwala e Mulago  ng'embeera mbi .

MEEYA WE KAWEMPE

Emmanuel Sserunjogi  meeya we Kawempe:Kawempe erina ebibinja by'abaana ebiwerako ebitogomya abantu naye  tugenda kufuna  abantu abagenda okutandiika okwogera n'abaana bano okulaba nga bajja mu mizi emibi ng'abamu abanaba bakyali omutima ogwagala okussoma tujja ku bafunira ebibiina ebiyamba abaana bibawerere .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...