TOP

Omukazi kkondo w'amayumba bamukutte

Added 12th July 2016

Ba kafulu mu kumenya amayumba Poliisi ebakutte n'ebikozesebwa

 Omusirikale ng'alaga ebimu ku bintu ababbi bye bakozesa okumeenya amayumba

Omusirikale ng'alaga ebimu ku bintu ababbi bye bakozesa okumeenya amayumba

POLIISI egudde ku kibinja ky’ababbi nga kuliko n’abakazi ababadde bamenya amayumba n’okulinnya ebikomera ne banyaga abantu emisana ttuku.

Baasangiddwa n’ebisumuluzo eby’enjawulo n’ebyuma bye babadde beeyambisa okumenya amayumba.

Poliisi y’e Kabalagala yakutte ababbi bano oluvannyuma lw’okutemezebwako abatuuze nga bwe baabadde batambulira mu mmotoka ekika kya Noah nga balina ennyumba gye baabadde bagenze okunyaga kyokka abatuuze bwe baabalabye ne badduka.

Ebisumuluzo ababbi bye bakozesa

Yagambye nti ababbi bano babadde bamenye ennyumba ya Hassan Basajjabalaba  ezipangisibwa esangibwa e Buziga ng’okubazuula kyadiridde abantu ababadde okumpi okwekengera mmotoka eyabadde eyingidde ekikomera nga abantu abagirimu tebamanyiddwa mu kitundu kino nebatemya ku poliisi .

Yategezezza nti poliisi yasudde emisanvu e Kansanga n’ebakwata era ne basanga n’akasawo omwabadde ebintu ebyeyambisibwa mu kumenya amayumba ssaako n’ebisumuluzo ebisoba mu 30 wabula omuku ku bbo nadduka ababiri ne bakwatibwa. Yagambye nti abakwatiddwa bakkiriza nga bwe benyigira mu ku bba nadala okumenya amayumba gebazuula nti banyinigo tebaliiwo bagenze ku mirimu.

Yanyonnyodde nti ababbi bano balina ekibinja kyabwe  nga benyigira n’emukumenya amayumba mu ggwanga lya Kenya  nga ekibinja kyabwe kirimu abasajja basatu n’abakazi basatu era nga bafuna mmotoka gye bapangisa mwe batambulira okugenda okubba.

Yagambye nti ababbi bano baabadde bagenze okumenya amayumba g’abapangisa ba Hassan Basajjabalaba agali e Buziga ng’abantu abaliraanyeewo be beekengedde emmotoka eyingira mu kikomera nga bannannyini waka be bamannyi tebaliimu.

Yagambye nti poliisi olwagitemezzaako n’esuula emisanvu mu makubo gonna agava e Buziga ne babakwatira e Kasanga nga baabadde n’ebisumuluzo ebyenjawulo 30, ng’omu yasobodde okudduka kyokka ababiri ne bakwatibwa.

Yagambye nti abaakwatiddwa bakkirizza nga bwe beenyigira mu kubba nga bamenya amayumba nga bannyinigo bagenze okukola.

Yannyonnyodde nti ababbi bano balina abantu abalala be bakolagana nabo ng’ekibinja kyabwe kirimu abasajja basatu n’abakazi basatu nga bagamba nti oluusi basala n’ensalo ne bagenda e Kenya.

Poliisi yagenze mu nnyumba gye bapangisa e Munnyonnyo ng’erimu  ebintu eby’omuwendo ebiteeberezebwa okuba nga babibba.

N’agamba nti okunoonyereza ku kyagenda mu maaso okuzuula abantu abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...