TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi n'amagye erwanaganye n'abawagizi ba Besigye ng'ava mu kkooti

Poliisi n'amagye erwanaganye n'abawagizi ba Besigye ng'ava mu kkooti

Added 12th July 2016

Poliisi n'amagye erwanaganye n'abawagizi ba Besigye ng'ava mu kkooti

POLIISI  n’amaggye bakubye abawagizi  ba Dr Kizza Besigye ababadde bamulinddiride ku luguudo lw’e Gayaza okuviira ddala ku nkulungo y’okubbiri okutuuka e Kasangati okumukuliisaayo mu kkomera.  

Aduumira ebikwekweto mu Kampala n’emiriraano SSP/ James  Ruhweza ye yakuliddemu ekibinja kya baserikale ba poliisi n’amaggye gattako  n’abavubuka  abakuba abantu kibooko mu Kampala n’abalagira obutakkiriza wa boda boda yenna wadde atambuza ebigere okumukkiriza okugoberera Besigye okumutuusa ewuwe.

Besigye bwe yasimbudde ku kkooti enkulu mu Kampala oluvannyuma lw’okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti ku musango gw’okulya mu nsi ye olukwe yalinnye mmotoka y’omubaka w’e Rukungiri Francis Mujukye n'ayita ku Sheraton Hotel  nayambuka okutuuka ku nkulungo ya Fair way Hotel poliisi n’eyagala okumulemesa okuyita e Mulago wabula n'agikuba ekimmooni.  

Wano mmotoka za poliisi n’amaggye ezabadde omwenda nga zimugoberera zamugobye  ne bamusanga ku nkulungo y’oku bbiri e Mulago ne batandika okuvuga  nga bamutayiza nga ye atambulira  wakati wazo  bakira eno ebbali bwe bakuba abantu kibooko ku makubbo ababadde bamulinddiridde.  

Poliisi y'Amagye erwanaganye n'abawagize ng'ava mu kkootiNg’oggyeko abaserikale  ababadde mu yunifoomu  n’abavubuka aba kibooko sikwadi omwabadde n’abavuzi ba takisi  bo babadde bali ku boda boda nga nabo bagenda bakuba abantu kibooko n’okubasindika okuva ku luguudo baleme kulaga Besigye buwagizi.  

Ku Kalerwe Besigye yasanze  abantu bamutegekedde  eby’okulya omuli ennanansi, Water meron ne kalonda omulala wabula obweda buli ayagala okubimukwasa nga poliisi n’amagye bibakuba emiggo okutuusa abamu  bwe basinzidde ebbali w’oluguudo ne babimukasuukira mu mmotoka ye munda.  

 Embeera  bw’etyo bweyatambudde okutuukira ddala e Kasangati nga poliisi egenda erwanagana na bantu. Besigye bweyatuuse ku kubbo erikyama ewuwe poliisi n’egaana abawagizi be okukyama naye mu makage naggyayo omutwe n’abagamba nti mubeere bagumu bantu bange.

 “Nkomyewo tewaba abatiisatiisa n’aba poliisi temubatya kubanga mu kimanyi bulungi nti abo ba ’kifeesi’ abenoonyeza ebyabwe era wenakoma we ngenda okutandiikira” bwatyo Besigye  bweyategezezza abawagizi be.  

Oluvannyuma Besigye yagenze mu makaage n’abamu ku bantu ne bawaguza ne bamwaniriza mu luggya lwe bakira bamugwa mu kifuba omwabadde  n’abayimbi okuli  Bobi Wine ne Ronald Mayinja n’ababaka ba palamenti bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....