
Gen. Katumba Wamala ng’ali ne Majegere.
OMUDUUMIZI wa magye mu ggwanga, Gen. Katumba Wamala yennyamidde olw’omuwendo gw’abaana abato be bayigiza mu buyeekera nga bayita mu kibiina kya Allied Democratic Forces (ADF), n’abasaba okukikomya.
Gen. Katumba yagambye nti abaana bangi abatwalibwa mu ADF mu Congo ne beegatta ku bayeekera n’asaba abatuuze, abazadde n’abantu bonna okukwatira awamu okulaba ng’abaana baabwe tebeenyigira mu kikolwa kino.
Yagambye nti disitulikiti y’e Mayuge y’esinga okuvaamu abaana abayigira mu buyeekera n’asaba abatuuze nga bakolagana n’abakulembeze okuzuula lwaki abaana abasinga bava mu kitundu kino.
N’agamba nti ekisinga okwennyamiza abaana abayingira obuyeekera babeera bato ddala nga bali wakati w’emyaka mwenda ne 13.
Ekibiina kya ADF kyatandikibwawo mu 1997 mu Uganda nga kati bali ne mu Congo.
Gen. Katumba yabadde ku ssomero lya pulayimale e Minoni mu ggombolola ye Mpungwe mu disitulikiti y’e Mayuge ku mukolo ogw’omubaka mu Palamenti owa Bunya East, Waira Kyewalabye Majegere ogwokwebaza abantu abaamulonda n’okwebazza Katonda eyamusobozesa okutuuka ku buwaguzi buno.
Wamala asabye abakulebeze mu disitulikiti y’e Mayuge nga bali n’omubaka wa Pulezidenti, Sulaiman Ogajjo Barasa okulwanyisa ekikolwa ky’abaana okugenda mu buyeekera.
N’akakasa abantu nti ebyokwerinda biri bulungi mu ggwanga. Majegere yasiimye abantu okumulonda ng’omukiise waabwe era n’abasuubiza nga bw’ajja okukola kye bamusuubiramu omuli okutumbula ekitundu kyabwe.