
NTI emmwaanyi ya kase eya Robusta etuuse ku 5,000/- buli kkiro? Guno gwe mulundi ogusoose bbeeyi y’emmwaanyi ekika kya Rubusta okupaaluuka okutuuka ku ssente zino ng’ebadde egula wakati wa 4,300/- ne 4,500/- buli kkiro ya kase.
Kase y’emmwanyi emaze okuggyibwako akakuta ng’ekaze. Bbeeyi egenze okulinnya ng’emmwaanyi ezisinga mu bitundu bya Buganda zikendeedde nga kati ezisinga ziva mu bitundu by’e Ankole.