TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri 9 eziyamba omukyala okutangira obulwadde bw'okutonnya

Engeri 9 eziyamba omukyala okutangira obulwadde bw'okutonnya

Added 14th July 2016

Ekirwadde kino okusinga kikosa bawala abafuna embuto nga tebaweza myaka 20, kuba amagumba gabeera tegannaguma nga kyangu kya kukosebwa.

 Musumika yawonyezebwa obulwadde bwa fisitula.

Musumika yawonyezebwa obulwadde bwa fisitula.

Bya KIZITO MUSOKE NE MOSES KIGONGO

Mariam Musumika 33, omutuuze w’e Gombe mu disitulikiti y’e Butambala yeebaza abasawo b’e Kitovu olw’okumuwonya okusekererwa n’okuswala kwe yayitamu ng’afunye obulwadde bw’okutonnya.

Yagambye: Embeera y’okutawaanyizibwa okutonnya yantandika oluvannyuma lw’okulongoosebwa mu ddwaaliro e Gombe bwe nali hhenzeeyo okuzaala .

Mu kusooka nadda bulungi engulu era abantu bange ne basanyuka nga balaba Mukama aluhhamizza abasawo ne bannongoosa bulungi, kyokka waayitawo ennaku ntono nga ndaba engoye zange zibeera zibisiwadde buli kiseera.

Kino kyampaliriza okugendako mu bulwaliro bw’oku kyalo okufuna obujjanjabi obw’amangu kyokka abasawo ababukolamu na kati siribeerabira kuba banswaza ebitagambika ku kyalo kyonna bwe banjogerako mu bantu.

 Omukyala eyawona fistula

Be nali nsuubira okumbudaabuda oluvannyuma lw’okubafunako obujjanjabi, be baakulembera olugambo n’okungeya ku kyalo nti nnina ekirwade ky’okutonnya ekintu ekyampisa obubi ne ntandika okwekweka abantu nga ntya okunsekerera mu lujjude.

Era kino kyampaliriza okwekukuma mu nnyumba okumala ebbanga okutuusa omuzirakisa bwe yakitegeera n’andagirira e Kitovu gye nafunira obujjanjabi ne mpona.

Kati ndi mulamu era nsobola okubeera mu bantu abalala nga sirina kutya kwonna, era nsobola okukola emirimu gyange nga bwe nakolanga nga sinnalwala”, Musumika bw’amaliriza.

Ku buli bakyala 50 abazaala, omu yali afunye ku bulwadde bwa ‘fisitula’. Abakazi 95 ku buli 100 obuzibu babufuna mu kiseera ky’okuzaala.

Maama alemererwa okuzaala oluvannyuma lw’omwana okulemwa okufuluma, era ekivaamu ye muzadde okuyulika n’atandika okukulukuta nga takyasiba musulo wadde obubi.

Ekirwadde kino okusinga kikosa bawala abafuna embuto nga tebaweza myaka 20, kuba amagumba gabeera tegannaguma nga kyangu kya kukosebwa.

Ekisinga okuluma, abaana 80 ku 100 abazaalibwa maama ng’alina fisitula bazaalibwa bafudde, ate nga n’omukazi ayita mu bulumi obutagambika.

‘Okutonnya nasoo ka kulwala nNabaana’ Margaret Baluku wa myaka 45, abeera Busoga ku kyalo Buyoboya mu ggombolola y’e Bukoye mu disitulikiti y’e Namutumba.

Y’omu ku bakyala abasanyufu oluvannyuma lw’okuwonyezebwa okutonnya gye buvuddeko bwe yajjanjabwa mu ddwaaliro e Kitovu.

Ayogera bwati: “Obulwadde bwa fisitula bwava ku nnabaana okulwala era namala n’ekizibu kino emyaka ebiri okutuusa abazirakisa lwe bandagirira mu ddwaaliro e Kitovu gye bannongooseza.

KATI ndi musanyufu kuba ndi mulamu ng’abakyala abalala bonna mu ggwanga”. Nneebaza Kabaka, abasawo b’e Kitovu n’abantu bonna abavuddeyo okuyamba okusonda ensimbi okulaba nga naffe tujjanjabwa tuddemu bulamu obwa bulijjo.

Dr. Peter Mukasa Kivunike, omukugu mu kujjanjaba fi situla mu minisitule y’ebyobulamu n’ekitongole kya UNFPA awa amagezi ku ng’eri gy’oyinza okwewalamu obulwadde buno.

1 Abakyala abembuto basaanidde okugenda mu ddwaaliro ne banywa eddagala waakiri emirundi esatu nga tebannaba kutuusa kiseera kya kuzaaliramu.

Mu kiseera kino abasawo babeera basobola okulaba obunene bw’omwana ne bawabula omuzadde ku ngeri gy’ayinza okuzaalamu nga bukyali.

2 Kirungi owoolubuto okuzaalira mu ddwaaliro omuli abasawo abatendeke nga bwe liba lya Gavumenti liba ku mutendera gwa Health Centre 11, 111, IV n’eddwaaliro eddene.

Bwe libeera lya bwannannyini era lirina okuba nga litegeerekeka, kuba eno tebajjanjaba mu ngeri ya kuteebereza na kikwate. Bwe balaba obuzibu basindika omulwadde mu ddwaaliro erisingawo nga bukyali.

3 Omukyala yenna asaanidde okumanya ebikwata ku fi situla n’omanya ebimuleeta n’obubonero. Kino kyanguyiza okwewala amakubo agamuleeta n’ofuba okugeewala.

4 Agenda okuzaala olina okwetegeka nga bukyali n’ofuna ebyetaago byonna. Olina okumanya eddwaaliro ly’okuzaaliramu, alikutwala mu ddwaaliro, ssente z’obuyambi, ani gw’onooleka awaka n’ebirala.

5 Omusajja asaanidde okwenyigira mu nteetateeka z’okuzaala zonna okutandikira mu kwekebeza endwadde, okugula ebyetaagisa, n’okuwerekera ku mukyala ng’agenda okuzaala. Emirundi egimu bwe mubeera ababiri musala mangu amagezi nga bukyali.

6 Okwewala okuzaalira okumukumu. Omukyala asaana okuyisaawo ekiseera nga tannaddamu kufuna lubuto omubiri ne gusooka guddamu okwetereeza.

7 Kirungi okusomesa abaana abawala kibayambe okulwa mu ssomero baleme kuzaala nga tebanneetuuka. Okulwiisa omwana mu ssomero kimuyamba obutamala gafuna mbuto z’ateetegekedde.

8 Omuzadde ng’okuza omwana omuwala kakasa nti omuliisa bulungi ng’omuwa emmere erimu ekiriisa ekigumya amagumba kimuyambe okuguma n’okumutangira okufuna obuzibu buno. Ekirala, omwana bw’alya obulungi kimuyamba okukula n’omubiri ogulina amaanyi.

9 Abazadde, n’abasomesa, basaanidde okumanyisa abantu ku kizibu ky’okutonnya. Abantu bonna bwe banaaba bategedde kijja kubanguyira okwewala amakubo agaleeta endwadde eno.

Ekibiina kya Women at Work International (WAWI) kitegese okutambula okuluubiriddwaamu okuyamba abakazi abatawaanyizibwa fisitula mu Uganda. Halima Namakula, akulira WAWI agamba nti okutambula kujja kubaawo ku Lwomukaaga nga July 16, 2016 nga basimbula ku Centenary Park mu Kampala ku ssaawa bbiri ez’oku makya.

Kino kibiina kya bwannakyewa ekiyamba abaana n’abakazi okulaba nga bafuna obujjanjabi obulungi, ebyenjigiriza n’okutumbula ebyenfuna byabwe n’emirimu emirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...