TOP

Abatujju basse abantu mu Bufalansa

Added 16th July 2016

EMIRANGA n’ebiwoobe bibuutikidde ekibuga, abatujju balumiramwoyo ababadde mu kimotoka bwe bakivuze mukungujjo ne basaabala enkumi n’enkumi z’abadigize okukkakkana ng’abasoba 80 bafu n’abalala abasoba mu 100 ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

 Abaasimattuse nga poliisi ebakuuma okuva mu kifo kino.

Abaasimattuse nga poliisi ebakuuma okuva mu kifo kino.

BUFALANSA

EMIRANGA n’ebiwoobe bibuutikidde ekibuga, abatujju balumiramwoyo ababadde mu kimotoka bwe bakivuze mukungujjo ne basaabala enkumi n’enkumi z’abadigize okukkakkana ng’abasoba 80 bafu n’abalala abasoba mu 100 ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

Bino bigudde mu kibuga Nice mu Bufalansa, abatujju bwe bageze nga nnamungi w’omuntu akungaanye ku bikujjuko by’okujjukira bannansi lwe baatandika okwerondera abakulembeze n’abasaabala n’oluvannyuma bwe basaasaanye n’abasindiriramu amasasi agalese ensi yonna mu maziga n’okwennyamira.

Obulumbaganyi buno bwabaddewo ku ssaawa 5.00 ez’ekiro ky’Olwokuna nga buno bwa mulundi gwakuna mu myaka ebiri okutuusibwa ku Bufalansa, erimu ku mawanga kirimaanyi mu nsi yonna.

Bwazzeewo oluvannyuma lw’ennaku nnya zokka ng’empaka z’omupiira eza Bulaaya (Euro) zaakafundikirwa era nga bangi ku bawagizi babadde bakyasiisiddemu okulya obulamu.

Oluvannyuma lw’ekimotoka okulinnya abantu, waabaddewo okubwatuka kw’amasasi nga poliisi erwanagana n’omutujju eyabadde yeesomye ng’alemedde ku ky’okutta abantu. Amasasi gaamukwasizza n’afiirawo.

Akabiina k’abatujju aka ISIS keewaanye nti bammemba baako be bali emabega w’obulumbaganyi buno.

Okumanya ng’abatemu bazze bamazeeko, poliisi bwe yayazizza ekimotoka mwe yabadde yasanzeemu emmundu ne bbomu ezikasukibwa.

Essaawa abatujju we baalumbidde abantu ebiriroliiro byabadde byakatandika okubwatuka. Olunaku luno lubeera lwakuwummula mu Bufalansa nga lussibwamu nnyo ekitiibwa.

Ekimotoka ekyasaabadde abantu kyatambudde mayiro nnamba nga tekinnayimirira era obwedda abantu bakyekanga ng’abaabadde ab’omukisa baasobodde okussaako kakokola tondeka nnyuma.

Ekimotoka ekyasse abantu.

 

Emirambo gy’abantu gyasigadde gigangalamye ku makubo nga mwabaddemu n’abaana abato.

Abakyala abamu baalabiddwa nga kibayitiriddeko kuba baasigadde batudde ku mabbali g’oluguudo awaabadde emirambo nga poliisi ye yabayambye okubaggyaawo n’ebatwala ewaabwe.

Abantu abaabadde ku bizimbe waggulu baalabiddwa nga balingiza kyokka nga basobeddwa kuba baabadde tebamanyi waakuddukira.

Kyategeezeddwa nti singa poliisi teyayanguye kutuuka omutujju yabadde akyatta abantu okuva n’emmotoka bwe yasangiddwaamu bbomu.

Poliisi erwanyisa obutujju mu Bufalansa yawadde ekiragiro abantu okusigala mu mayumba gaabwe, okutuusa nga bamaze okukakasa nti embeera ezze mu nteeko.

Abaserikale obwedda batambula n’ekizindaalo nga babuulira abantu ebifo awookulaga n’okubagaana okugenda mu bifo ebimu.

Emmotoka omutujju mwe yabadde yonna baagikubye amasasi agaagisensebudde, okutuusa naye lwe yattiddwa kyokka nga waabaddewo ensiitaano ey’amaanyi.

Omugoba w’ekimotoka ono obwedda alinnya abantu ng’abagezaako okudduka b’asindiriramu amasasi. Poliisi eteebereza nti mu mmotoka eno ayinza okuba nga yabaddemu n’omuntu omulala anoonyezebwa.

Kigambibwa nti omutujju yawuliddwa ng’aleekaana nti , ‘Allahu Akbar’ ekitegeeza nti Katonda munene.

Ebiwandiiko ekyafulumiziddwa kiraga nti omuvubuka eyattiddwa yabadde wa myaka 31, ng’alina obutuuze mu Bufalansa ne Tunisia.

Francois Hollande, Pulezidenti wa Bufalansa yategeezezza nti abantu abasinga abattiddwa baabadde baana era n’alangirira ebiseera ebya kabenje mu ggwanga okumala emyezi esatu.

Minisita w’ensonga z’omunda Pierre-Henry Brandet, yagambye nti bali mu kunoonyereza okuzuulira ddala oba ng’omutemu yabadde yekka oba nga waliwo abaamuyambyeko okutegeka obutemu buno nga singa banaabaawo bonna bajja kukwatibwa.

Obulumbaganyi buno we bujjidde ng’akabinja k’abatujju aka ISIS kaakamala okukola obulumbaganyi mu kibuga Paris mu November wa 2015, omwafiira abantu 130. Mu 2014, abasajja babiri baalumba abantu nga bakozesa emmotoka e Bufalansa mu nnaku bbiri ezoomudirinhhanwa.

Obulumbaganyi obwasooka bwali mu kibuga Dijon ne balumya abantu 13 ate obwaddako bwali mu kibuga Nantes ne batta omuntu omu abalala mwenda ne bagendera ku bisago.

Oluvannyuma omutemu eyatta abantu mu kibuga Nantes yeetugira mu kkomera ng’okumuwozesa tekunaagwa.

Abaasimattuse nga poliisi ebakuuma okuva mu kifo kino.

 

 

Trump avuddeyo ku butujju

Avuganya ku Bwapulezidenti bw’Amerika, nnaggagga Donald Trump, yavuddeyo mu bukambwe n’avumirira Pulezidenti Barack Obama nti y’omu ku baginya abatujju n’okubafuula ab’ekitalo.

“Nkiddamu, bwe naalya Obwapulezidenti ng’enda kusabirawo Congress (Olukiiko lwa Palamenti) olukusa olulumba n’okusaanyaawo akabinja ka ISIS,” Trump bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, “Tuleme kwekkiriranya ku batujju. Nabagamba era sikikyusaamu, abantu bonna abava mu mawanga agavaamu abatujju tebalina kukkirizibwa kuyingira mu nsi yaffe. Kye mugamba bava Sweden? Mbadde mumanyi ensi mwe basiisidde! Ezo ze tuba tussaako nnatti abantu baazo baleme kuyingira mu nsi yaffe.”

Yayongeddeko nti, “Waakiri tulina okubeekenneenya ennyo nga bayingira ensi zaffe naye ekiriwo, tusudde ennyo ennanga mu kulondoola n’okwekenneenya empapula zaabwe. Bano bantu batemu nnyo abatuzzizza ennyo emabega era abatulugunya abantu baffe sso nga tetubeetaaga nnyo. Tulina okukomya okubasiisiitira.”

OBAMA ASAASIDDE

Barack Obama yasaasidde bannansi ba Bufalansa olw’obutujju n’agamba nti Amerika eri wamu nabo ne Bulaaya yonna mu kukungubaga kwe balimu.

Yagambye nti Amerika egenda kubeegattako mu kuwenja abaakoze obutemu buno n’okubasaanyaawo yonna gye bali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...