TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde ayagala okwetuga abatuuze bamutaasizza n'abatabukira

Abadde ayagala okwetuga abatuuze bamutaasizza n'abatabukira

Added 16th July 2016

Abadde ayagala okwetuga abatuuze bamutaasizza n'abatabukira

 Abatuuze nga balwana n'omusajja eyewadde obutwa okumuwa amata

Abatuuze nga balwana n'omusajja eyewadde obutwa okumuwa amata

ABATUUZE batabukidde omusajja ayewadde obutwa lwa mukama we kumugoba ku mulimu  wabula naye n'abaddiza omuliro nga ababuuza lwaki baamuwadde obujanjabi obwawmulemesezza okufa.

Denys  Asiimwe ng'abadde akola gwa kukuuma mu maka ga Festasi Musinguzi omutuuze we Kanyanya ng'alina edduuka erisuubuza ebintu ku Kaleerwe ku Lwokutaano ye yavudde mu mbeera neyeewa obutwa ng'agamba nti mukama we yamugobye kati talaba gyalaga okujjako okwewa obutwa, Asiimwe obutwa yabweweredde mu Kibe zooni ng'abatuuze baamaze kumulaba ng'agudde wansi abimba ejovu .

Abatuuze abaakulembeddwamu Richard Obema akulira eby'okwerinda mu Kibe zooni baategeezezza poliisi ssaako n'okunoonya amata okulaba bawonya Asiimwe  era Katonda yayambye nadda engulu abatuuze ne batandiika okumuvuma ng'abamu baabadde bagala kumuyisamu mpi kyokka Ssemakula n'abagaana.

Asiimwe eyabadde ali mu mbeera embi kyamutwalidde essaawa n'omusobyo okudda engulu olw'amaze okumuwa okumuwa obujjanjabi obusokerwako (First Aid ) nayambalira abaamuwadde

obujjanjabi nti kye baakoze kikolwa kikyamu okuyingirira eddembe lye kuba talina gwe yasabye buyambi bwe era singa yafudde tewali gwe yandibadde atwalidde kikye ,oluvannyuma yayolekedde edduuka lya Musinguzi  natandiika okuyomba nga bwa mubuuzza lwaki yamugobye nga wano Poliisi we yamugye n'emutwala.

Musinguzi yategeezezza nti amaze ne Asiimwe emyezi mukaaga ng'akola gwa kugulawo geeti mu maka  ge e Kanyanya kyokka lina ensobi zazze akola nga ne ku Lwokuna  yamunenyezzako era namuwa ssente ze ku Lwokutaano ku makya namulagira agende  mu mirembe kuba yabadde tasobola kuguminkirizza nsobi ze .

Yagasseko nti Asiimwe abadde akolera emitwalo kkumi buli mwezi  nga ku mwezi gwa July abadde yakakola enaku 14 era yazimusasu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.