TOP

Abakungubazi baakedde ku "kkanisa" ya Mukajanga

Added 17th July 2016

Omuvubuka Lawrence Kiggundu bakira yeeziribanga nga bw’akaaba ng’agamba nti yali mulwadde ng’afiira e Mulago ne bamutwala ewa Muuka (Mukajanga) n’amusabira n’awona. “Obadde tosaba bantu ssente nga ze balina ze bakuwa.

 Mukajanga

Mukajanga

Bya SILVANO KIBUUKA

ABANTU naddala ababadde basabira ewa Mukajanga oluwulidde nti omuntu waabwe John Bosco Mukajanga afudde bazze kipayoppayo ku kizimbe kya Jemba Plaza ku Luwum Street mu Kampala okukakasa ku makya g’Olwomukaaga.

Bangi baatemye emiranga n’okweziribanga wakati mu kunyolwa. Bakira buli omu amulojja lulwe nga bajjukira lwe baasemba okubeera naye ku ‘kkanisa’ eyo ku Lwokuna nga July 14 mu kusaba. Abasinga obwedda olutuukawo ne bakakasa okufa nga beeyongerayo e Mulago, eyabadde etwaliddwa omulambo gwe.

Omuvubuka Kiggundu ng’akaabira Mukajanga ku Jjemba Plaza ku kifo we babadde bakuηηaanira eggulo.

 

 

Omuvubuka Lawrence Kiggundu bakira yeeziribanga nga bw’akaaba ng’agamba nti yali mulwadde ng’afiira e Mulago ne bamutwala ewa Muuka (Mukajanga) n’amusabira n’awona. “Obadde tosaba bantu ssente nga ze balina ze bakuwa.

Ani anaatutuusiza okusaba kwaffe eri Omukama? Sitaani atukoze bubi okukutwala. Teri ky’obadde osabira ne kigaana,” bakira Kiggundu bw’alaajana.

Joy Namutebi yabadde mu kukaaba ng’agamba nti Mukanjanga yasemba okugamba abantu b’asaba nabo ku Jemba Plaza nti mwesabire nnyo nange munsabire.

Emirimu gyasannyaladde mu biseera eby’oku makya ku mwaliiro ogwokusatu ku Jemba Plaza awali ekifo Mukajanga gy’abadde akuηηaanyiza abantu okubasabira.

Ekifo kino kibadde kiggale era tewali yayingidde munda. Abadde ne Pulogulaamu ku luggi lw'e "Kkanisa" kw’abadde atambulira.

Mmande: Okusaba ku Jemba Plaza n’okubuulirira abantu okuva ku ssaawa 5:00 ez’enkya okutuuka ku 11:00 ez’akawungeezi nga waliwo ne Lunch Hour ate okuva ku 11:00 n’agenda ku Gaggawala Shawuriyako.

Abawala ku Jjemba Plaza nga bakaabira Mukajanga ku kifo w

 

Ku Lwokubiri abadde abeera Bukalango okuva ku ssaawa 5:00 ez’enkya.

Ku Lwokusatu abadde asabira abantu okuva ku ssaawe 4:00 ez’enkya okutuuka ku 11:00 ku Jemba Plaza nga mulimu ne Lunch Hour ate ku Lwokuna abadde ateekawo okusinza okw’awamu (fellowship) ku Jemba Plaza okuva ku ssaawa 11:00 akawungeezi.

Ku Lwokutaano abadde talaba bakkiriza ate nga ku Lwomukaaga alaba abo bokka abali ku apoyintimenti.

Ku Ssande ku Bukedde TV1 abadde alina pulogulaamu y’Emmere y’Omwoyo (ssaawa 5:00 – 5:30 ekiro).

Buli  olusembayo mu mwezi abadde abeera Bukalango mu kusaba okuyitibwa Sangaalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...

Israel etenderezza Museveni...

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde...