TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akulira poliisi y'ebidduka e Kalungu afiiridde mu kabenje ddekabusa ku lw'e Masaka

Akulira poliisi y'ebidduka e Kalungu afiiridde mu kabenje ddekabusa ku lw'e Masaka

Added 18th July 2016

AKABENJE akalala ddekabusa kagudde ku luguudo lw’e Masaka ne kattiramu Deo Kweyamba abadde akulira Poliisi y’ebidduka mu disitulikiti y’e Kalungu bw’abadde agezaako okutaggulula mmotoka ezaasoose okutomeragana nga zizibye ekkubo.

AKABENJE akalala ddekabusa kagudde ku luguudo lw’e Masaka ne kattiramu Deo Kweyamba abadde akulira Poliisi y’ebidduka mu disitulikiti y’e Kalungu bw’abadde agezaako okutaggulula mmotoka ezaasoose okutomeragana nga zizibye ekkubo.

Kano kaavudde ku lufu oba kalenge eyagudde nga bukya n’akwata akazigizigi kyokka baddereeva ne bavugisa ekimama nga tebasaze ku misinde wadde nga kyababeeredde kizibu okulengera obulungi mu maaso gye baabadde balaga.

Akabenje kano kaagudde mu kikko ekyawula obutunnumba okuli obubuga ak’e Mukoko n’ako ku Masaaba e Bukulula nga waakava e Lukaya ng’odda e Masaka nga gye kakkidde ng’emmotoka mukaaga zonna zeegoyeegoye.

Mmotoka kw’abaddeko Double Cabin UAD 712Z, bbaasi eya kkampuni ya Jaguar UAT 728F, bbaasi endala ey’e Rwanda eya kkampuni ya Volcano RAD 793 B zino nga zaabadde ziva ku lw’e Masaka zoolekera Kampala.

Ate endala yabadde lukululana nnamba UAV 384G, Fuso nnamba UAV 866V ng’eno yabadde etisse sooda ne Fuso nnamba UAT 262T eyabaddeko seminti.

Zino zaabadde ziva Kampala nga zoolekedde Masaka. Akabenje kano kaasombodde abapoliisi okuva e Masaka n’e Kalungu okwabadde abaduumira mu Greater Masaka Maxwel Ogwal n’adduumira Poliisi y’e Kalungu Latif Zaake abannyogoze olwa munnaabwe afudde.

Kyatutte essaawa 4 okugattulula emmotoka mu kifo kino. Abantu babiri be baafudde abalala ne bagendera ku bisago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...