TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe w'e Makindye akwatiddwa lwa kujingirira biwandiiko n'atunda ettaka

Ssentebe w'e Makindye akwatiddwa lwa kujingirira biwandiiko n'atunda ettaka

Added 22nd July 2016

SSENTEBE wa LC 1 Makindye akwatiddwa mu kibinja ky’abafere abajingirira ebiwandiiko ne batunda ettaka ly’abantu mu Kampala mu bukyamu.

 Juliet Mugerwa ne Kagimu wakati) nga bali ne Onyango ku CPS mu Kampala. EKIF: ERIA LUYIMBAZI

Juliet Mugerwa ne Kagimu wakati) nga bali ne Onyango ku CPS mu Kampala. EKIF: ERIA LUYIMBAZI

SSENTEBE wa LC 1 Makindye akwatiddwa mu kibinja ky’abafere abajingirira ebiwandiiko ne batunda ettaka ly’abantu mu Kampala mu bukyamu.

Baasangiddwa nga baguzizza omugagga yiika nnamba gye batalinaako bwannannyini bwonna.

Kagimu Saava Mpologoma (ssentebe wa Nabisaalu zooni) yakwatiddwa wiiki ewedde ng’akulidde ekibinja ekyeyise nti be bannannyini ttaka erisangibwa e Mutundwe.

Kagimu azze aggalirwa ku misango egy’enjawulo nga yakwatibwa mu 2012 olw’okubulankanya ssente obukadde 900 bwe yali akulira ekibiina kya COWE.

Mu ntegeka y‘okutunda, Kagimu yeeyise musika wa mugenzi Jameson Kasozi eyali abeera e Jalamba mu Mawokota nga yalina ettaka ddene e Mutundwe zooni I.

Yafuna banne, abakyala basatu ne beeyita aba famire ne bawandiika ebbaluwa nga balaga nti famire yali etudde mu kyalo ne bamuwa obuyinza okuddukanya n’okutunda ettaka ly’omugenzi basobole okukulaakulanya ebifo ebirala.

Ettaka lino erisangibwa ku Plot 125 Block 34 ku bukadde 76, baabadde baliguzizza omugagga Gideon Kibirango era ng’abasasuddeko obukadde 25.

Kagimu yeeyita mannya g’omusika Henry Muwonge Kasozi ng’ali n’abaana b’omugenzi okuli Juliet Nassozi Kasozi ne Babirye Nassozi Kasozi.

Kagimu Mpologoma bino byonna yabikola akimanyi nti abaana b’omusika bonna baagenda ku kyeyo e Bungereza (London) ng’ettaka libadde likuumibwa mukozi.

Abakulembeze omusangibwa ettaka, Kagimu yabategeeza nti ye nnannyini lye nga yali akomyeewo atunde ettaka lye.

Omukozi n’abakulembeze abagaliko bwe bamubuuza yabaggyirayo ekiraamo nga kyogera ku ye.

Yabalaga ebbaluwa okuva mu kitongole ekikola ku nsonga z’abafu nga nakyo kyogera ku ye.

Kuno yagattako n’okubalaga amawulire kwe baalangira okusobola okufuna obuyinza nga nago googera ku ye.

Yannyonnyola aba LC nti baali bagoba kufuna kyapa kubanga ekikadde, omugenzi kyamubula.

Wano aba LC n’omukozi ku ttaka kwe kukakasa nti kituufu lirye. Kagimu yafuna omugagga Kibirango ne bamutegeeza nti be baana b’omugenzi abatuufu era ne bamulaga buli kiwandiiko ekikwata ku famire n’ekiraamo kyokka nga byonna bijingirire.

Yabasasulako obukadde 25 n’azimbamu n’ennyumba y’abakozi n’okutandika okulimamu. Entabwe kwe yava ye muliraanwa okwagala okusika ekikomera nga kifunza poloti y’omugagga gye yaakagula.

Awo omu ku bamanyi famire n’atandika okubuuza ddala abaagenda e Bungereza baakomyewo batya ne batabalaba!

Wano we baavudde okubakubira essimu era omugagga agamba okugula ne bamutabukira.

Omugagga baamulagirira abamanyi obulungi famire n’abanoonya era n’afuna essimu z’abali e Bungereza.

Abaana abatuufu okuli Jameson Muwonge, James Kasozi ne Juliet Nassozi Kasozi abaabadde e Bungereza baakomyewo ne bategeeza omugagga nti baamufera kuba ne be yali akolaganye nabo tebabalinaako kakwate konna.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yagambye nti okubakwata baayitiddwa omugagga yennyini Kibirango amaleyo ssente zaabwe wabula bwe bazze n’abalaga obubbi bwe baakoze ne bakwatako babiri nga bwe bakyanoonya abalala.

Onyango yagambye nti bavunaanibwa emisango egyenjawulo omuli okweyita kye batali, okujingirira ebiwandiiko, okutwala ssente mu makubo amakyamu n’okusaalimbira ku ttaka eritali lyabwe.

Wabula Kagimu byonna yabyegaanyi n’ategeeza nti ye tamanyi ku bya ttaka eryo nga baserikale be baabimuyingizaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...