TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UMEME ekoze ekikwekweto n'eyoola ababba amasannyaze e Kawempe

UMEME ekoze ekikwekweto n'eyoola ababba amasannyaze e Kawempe

Added 25th July 2016

UMEME ekoze ekikwekweto n'eyoola ababba amasannyaze e Kawempe

 Aba UMEME nga sika waya z'amasannyalaza mu ttaka agagambibwa okubeera amabbe

Aba UMEME nga sika waya z'amasannyalaza mu ttaka agagambibwa okubeera amabbe

EKITONGOLE kya umeme kikoze ekikwekweto ne bagwa ku bifo ebikozesebwa ba kamyufu okubba amasanyalaze.

Umeme ezze ekola ebikwekweto ebyenjawulo mu Kampala n’ekwata abamaduuka amagalagi ssaako n'amayumba g'Abapangisa kyokka ekyennyamiza abantu abakwatibwa olubakwasa poliisi ng'ebata olw'okuba tewali tteeka lisiba muntu asangiddwa mu bubbi bwa'Amasannyalaze ekintu ekiviiriddeko abantu okkubwa amasanyalaze ne bafiirwa obulamu bwabwe.

 Ebitundu okuli Bwaise , Mpererwe , Mulago, Kanyanya , Makerere, Kikaaya, Kyebando , Kamwokya n’ebirala  birina abavubuka abaagufuula omulimu (bakamyufu)  okubba amasanyalaze nga bagagabira ebizimbe eby'enjawulo  nga buli muzigo bagusasuza omutwalo gumu okudda wagulu  buli mwezi nga gano gayisibwa mu myala wansi , mu mbalaza z’amayumba , mu ttaka , mu nguudo wakati ng’ebiseera ebimu bakamyufu bafuna obutakkaanya  singa omu ayingirira bakasitooma  bamunne.

Moureen  Namubiru omutuuze w’e Mulago ategeezezza nti ekisinga okubaluma abakozi ba Umeme balina abavubuka be bakolagana nabo mu kubba amasanyalaze era olumala okugasalako tewayita wadde essaawa aba UMEME olugenda nga bagazzaako.

Christopher Muhwezi omu ku bakulira ebikwekweto by’ababba amasanyalaze  ategeezezza nti baakutte mita  10 eza Yaka ng’ezikozesebwa okubba amasanyalaze etaano   zaasangiddwa Kawempe mu kisowera , emu baagisanze Kamwokya, esatu  zaazuuliddwa Kawempe Ttula ne ndala Mulago .

Agasseeko nti ebitundu bya kawempe ebisinga bikozesa masanyalaze mabbe , Ekikwekweto kino era kyakutte n’omusajja eyagambye nti wa Umeme ng’ono yasangiddwa wagulu ku muti ng’alina amayumba gazzaako ne bamukwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paasita Kyazze

Paasita naye ayogedde ku mu...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Poliisi eyongedde Cheptegei...

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa...

Abagoberezi ba Paasita Yiga...

Abagoberezi ba Paasita Yiga Mbizzaayo beeyiye ku ddwaaliro e Nsambya okukakasa oba ddala kituufu omutuufu waabwe...