
Gen Kale Kayihura
KKOOTI eyise omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura yeeyanjule mu kkooti lwa baserikale be kukuba bantu kibooko.
Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi wa kkooti ento e Makindye, Juliet Nakitende era n'alagira Kayihura okweyanjula mu kkooti nga August 10 omwaka guno.
Kayihura ayitiddwa wamu n’abanene mu poliisi okuli akulira ebikwekweto mu Kampala, James Ruhweza, aduumira poliisi erwanyisa obujagalalo; Samuel Bamuziibire, aduumira poliisi ye Wandegeya; Moses Nanoka n’abalala.
Kino kiddiridde abavubuka basatu okuli; Andrew SSebitozi, Rogers Ddiba ne Joseph Kaddu okuggula omusango ku Kayihura nga bamuvunaana okulagira poliisi okubakuba kibooko.
Bano bagamba nti Kayihura ye yawa abaserikale be ebbeetu okukubanga abantu era mu kukuba okwasembye okubaawo e Najjanankumbi, baatuusiddwaako obuvune obwamaanyi kwe basinzidde okuwawaabira Kayihura ogw'okubatulugunya.