TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze batutte poliisi mu bifo awasibuka abamenyi b'amateeka

Abatuuze batutte poliisi mu bifo awasibuka abamenyi b'amateeka

Added 25th July 2016

Abatuuze batutte poliisi mu bifo awasibuka abamenyi b'amateeka

 Dan Ampadde akulira y'e kagugube ng'awalabanya agambibwa okubeera omumenyi w'amateeka

Dan Ampadde akulira y'e kagugube ng'awalabanya agambibwa okubeera omumenyi w'amateeka

ABATUUZE  batutte poliisi mu nfo z'abamenyi b'amateeka gye basinziira okutigomya bannakampala ne bagiyamba n'okukwata ayeyita  abakulira . Ku Sande abatuuze b'omu muluka gwa Kagugube mu Kampla Central  baasoose kukuba lukiiko lwa bya kwerinda  mwe bayitidde DPC we Wandegeya Moses Nanoka DPC ne bamutegeeza nga bwe batakyalina bwesige ba Crime Preventer era ne bayisa ekiteeso ekibayimiriza mbagirawo ne basuubiza nti bbo sibeetegefu kukola ne Poliisi okugiraga buli kifo omusibuuka abamenyi b'amateeka abafuuse ab'omutawana mu kitundu kyabwe.

Abayamba ku Poliisi nga bawalabanya agambibwa okubeera omumenyi w'amateeka

Kasim  Lubowa ssentebe wa Industrial Area ategeezezza nti ba Crime Preventer abamu mu muluka gwabwe babafuukidde ekizibu nga bakolagana n'ababbi ekiviiriddeko obumenyi bw'amateeka okweyongera nga tebuliiko kiseera n'emisana abayaaye bateega abantu ne babakuba  kyokka buli poliisi lweba egenda okukola ekikwekweto ba Crime Preventer nga babalabula nga wano abatuuze we basinzidde ne babayimiriza  era abamu baabaddewo mu lukiiko luno abatuuze ne babalumiriza okuba abakyamu .

Abatuuze era balumirizza n'abamu ku bakulembeze ababadde bakolagana n'abamenyi b'amateeka "Si buli Crime Preventer nti mukyamu naye okuva lwe bayambala ku yunifoomu za poliisi mu biseera by'okulonda abamu ne balowooza nti baakitalo nnyo  ne batandika okukolagana n'ababbi kati ffe tubayimirizza tujja kukola ne poliisi ate buli gwe tunaakwata nga tumumanyi nti mubbi tugenda ku mugoba ku kyalo " Lubowa bwe yategeezezza.

Afande ng'ayogerera mu lukiiko lw'abatuuze

 Agasseeko nti ebifo ebikyamu okuli Oluguudo lwa Gadafi , Jjoro ku mwala ,Oluguudo lwa LDC, oluguudo lwa Hill , mu Kivulu I ku kisaawe , ku Luguudo lwa Bativa  ,yagambye wali n'ekibanda kya Firiimu ekibadde mu  zooni ya Industrial Area  ekyamenyeddwa nga kibadde nfo y'abamenyi b'amateeka ab'omutawana .

Abatuuze era baasabye Dpc okulaba gye basibira abaana okuva ku myaka 10 bebagambye nti nabo bazibu kyokka buli lwe babakwata nga poliisi ebayimbula .

Olukiiko bwe lwawedde abatuuze okw'abadde n'abakazi ne bakulemberamu poliisi ne bagitwala mu bifo ebikyamu okw'abaadde omwala gwa Namayiba ng'eno abayaaye baatandise okukanyuga amayinja kyokka ng'abatuuze basonga busonzi okukaKkana ng'abamu baddukidde mu myala nga mukama waabwe eyategerekeseko erya Walter nga yeyita  "KOMANDA ONE"   ng'ono yabadde akutte  ekibaawo ng'addumira ekibinja kye kirumbe abatuuze n'aba poliisi nga bwe kanyuga amayinja wabula abatuuze baalemeddeko ekyaviriddeko ekibinja kya Walter okuddukira mu myala .

Abayamba ku poliisi nga bawalabanya abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka bebakukunudde mu myala

Oluvannyuma abatuuze ne Poliisi baatayizza Walter  wakati mu mu kubasamba n'okubakuba ebikonde era DPC we Wandegeya Moses Nanoka  y'omu ku baakubiddwa  omugere  nga kino kyayongedde okumukakasa nti kituufu abatuuze bye bamugambye nti abayaaye baamutawana  kyokka abamu ku baddukidde mu myala  abatuuze baawaliziddwa okussa ebipiira mu mifulejje mbu abayaaye basobole okuvaayo gye baabadde bekukumye kyokka nga kino poliisi yakibagaanye  nga kino kye yawonyezza abayaaye abaddukidde mu myala

Alowoozebwa okubeera omumanyi w'amateeka ng'agezaako okwefubitika mu mwala oluvannyuma lw'okulaba Poliisi

 


DPC AYOGEDDE

Nanoka yategeezezza nti abatuuze okwekolamu omulimu ne batandika okukola ne Poliisi takirinaako buzibu kasita tebatwalira mateeka mungalo  

Yagasseeko nti ku nsonga y'abaana abalamuzi baakisalidde amagezi era abaana abatigomya abantu nabo balina gye bagenda okutwalibwanga.

DAN AMPADDE ATWALA POLIISI Y'OMU KAGUGUBE

Ampadde ategeezezza  mukama we DPC nti abatuuze b'omu Kagugube babadde bawolereza nnyo abamenyi b'amateeka  olw'okuba babaguza ebibbe nga abayaaye bakuba abantu emisana ng'abatuuze babazibira naye kati batandise kaweefube  ow'okukola ne poliisi .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...