TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Muve ku ηηombo ya Gavumenti etuyambe - Gen. Katumba Wamala

Muve ku ηηombo ya Gavumenti etuyambe - Gen. Katumba Wamala

Added 26th July 2016

OMUDUUMIZI w’amagye Gen. Katumba Wamala akuutidde abantu bave ku ng’omba ya Gavumenti etuyambe babeereko bye bakola nayo esobole okubakwasizaako.

Gen. Katumba Wamala ng'ayogera

Gen. Katumba Wamala ng'ayogera

OMUDUUMIZI w’amagye Gen. Katumba Wamala akuutidde abantu bave ku ng’omba ya Gavumenti etuyambe babeereko bye bakola nayo esobole okubakwasizaako.

Katumba yagambye nti bo nga famire baawaayo ettaka ne baakwatagana n’aba Rotary kati bazimbyeko eddwaliro erigenda okuyamba abantu b’e Ssese. Eddwaliro lino lisangibwa Ddajje Bweza e Kalangala.

Yabyogeredde Kololo ku Lwokubiri ng’aba Ahmadiyya Muslim Association , Uganda bamukwasa ebitanda 7 bye baatonedde eddwaliro lino.

Ebitanda kuliko kimu ekya leeba n’ebirala mukaaga eby’ebakibwako abalwadde.

Katumba yagambye nti eddwaliro lino balizimbye okuyamba ku bantu b’ekitundu okubasembereza obujjanjabi kubanga eribaddewo e Kalangala nga liri wala era baakikola okuteekerawo bakadde babwe ekijjukizo.

Gen. Katumba Wamala ng'ali n'Abasiraamu Abahamadiya (ku ddyo) abawaddeyo ebitanda eri eddwaaliro. Ku kkono be bamu ku bammemba ba Rotary . EKIF; BENJAMIN SSEBAGGALA

 

Aba Ahmadiyya ekitebe kyabwe kiri Wandegeya, baakulembeddwa Shuaib Kiyemba Nseera  akulira ekibiina mwe beegattira n’agamba nti okwesigama ku buweereza bwa Katumba eri Uganda takomye ku byakwerinda wabula akutte ne kukutumbula obulamu bw’abantu. Wano webaasinzidde okuwaayo ebintu bino okudduukirira eddwaliro.

Katumba yabadde wamu n’aba Rotary abaakulembeddwa pulezidenti wabwe Hellen Kaweesa. Yagambye nti ebizimbe by’eddwaliro n’ennyumba z’abasawo biwedde okuzimba kati bali ku mutendera gwa kuteekamu bikozesebwa.

Yeebazizza bano abaabasudde omukono, ne yeebaza famire ya Katumba okuwaayo ettaka n’asuubiza nti eddwaliro lyakuggulwawo mu September  omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...