TOP

Akubye 4 akakumbi; omu n'afiirawo

Added 26th July 2016

OMUSAJJA aguddemu akazoole n’akuba abantu bana akakumbi ku mutwe, omu afiiriddewo basatu basigadde bapooca.

 Kavuma mu ddwaaliro e Kiboga.

Kavuma mu ddwaaliro e Kiboga.

Bya PAUL KAKANDE

OMUSAJJA aguddemu akazoole n’akuba abantu bana akakumbi ku mutwe, omu afiiriddewo basatu basigadde bapooca.

Abatuuze naye bamusse. Ettemu lyabadde Bbulamazzi, mu ggombolola y’e Muwanga mu disitulikiti y’e Kiboga ku nkomerero ya wiiki ewedde. Moses Kisekka ow’e Nakaziba (Bukomero Town Council) y’agambibwa okuba nti yakubye Edith Nassolo 41 n’afiirawo, Edison Kavuma 42 yatwaliddwa mu ddwaaliro e Kiboga, Grote Nyinamayira 76 baamututte mu ddwaaliro e Bukomero ng’ataawa ne Maria Gorethi Nakitende 28 gwe baatutte mu kalwaliro e Jjokero.

Abatuuze olwawulidde nti waliwo eyabadde akubye abantu akakumbi ne batandika okusamba ensiko gye baagwiridde ku Kisekka naye ne bamukuba ne bamutta.

Abatuuze b’e Nakaziba basabye poliisi enoonyereze ezuule ekituufu kubanga balumiriza nti abantu olwawulidde nti waliwo akubye abantu ne basamba ensiko gye baagwiridde ku Kisekka naye ne bamukuba ne bamutta kyokka nga tewali yamulabye ng’akuba abaalumiziddwa n’eyafudde.

 

Kibiri Bulira ow’e Nakaziba yagambye nti newankubadde bagamba nti Kisekka abaddemu akazoole, naye abaddenga akwata ebyuma bye n’atambula n’agenda akola obwakinyoozi nga talina gw’atuusizzaako mutawaana.

Ssentebe w’e Bbulamazzi, Richard Mugire yagambye nti Kisekka abantu baamukutte mu biseera ebyamalya g’ekyemisana. Yagezezzaako okumutaasa abantu ne bamusinza amaanyi ne bamukuba ne bamutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...