TOP

Aggyeemu olubuto n'afa

Added 27th July 2016

OMUVUBUKA atutte omuwala mu ddwaaliro okuggyamu olubuto kyokka omuwala n’afiira ku ddwaaliro e Kiruddu.

 Nakato, abadde ow’emyaka 18.

Nakato, abadde ow’emyaka 18.

Bya Shamim Nabunya

OMUVUBUKA atutte omuwala mu ddwaaliro okuggyamu olubuto kyokka omuwala n’afiira ku ddwaaliro e Kiruddu.

Emmanuel Muteefu, 23, ow’e Kyebando ng’akolera ku kizimbe kya Majestic mu dduuka eritunda eby’abagole, yakwatiddwa oluvannyuma lw’okufa kw’omuwala Cissy Zahara Nakato,18 ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde.

Kigambibwa nti omuwala ono, abadde akola mu kirabo ky’emmere ku Arua Park mu Kampala, yatwaliddwa mu kalwaliro akamu e Nsambya West Zone okuggyamu olubuto nga muganzi we Muteefu amuwadde emitwalo 11 aggyemu olubuto.

Bwe baamaze okulumuggyamu, n’atabuka. Abasawo baamuwadde owa bodaboda (ataategeerekese mannya, nga kati anoonyezebwa poliisi) n’amuvuga ng’alebaaleba. Yamusudde ebweru w’eddwaaliro lya KCCA ery’e Kiruddu ku lw’e Salaama n’amulekawo n’avuga pikipiki ye n’adduka.

Abantu baamukuhhaaniddeko era wano n’abasawo we bajjidde kyokka baabadde bakyamubuuza ogubadde, n’akutuka n’afa.

Baakubidde poliisi y’e Katwe n’enona omulambo n’egutwala e Mulago. Ab’oluganda lwa Nakato baalabye abuze kwe kulumba Muteefu ku Ssande ne bamuyitira ne poliisi ku Majestic n’atwalibwa ku poliisi e Katwe.

Yakkirizza nti yawadde omuwala 110,000/- naye nti teyamugambye ky’agenda kuzikozesa. DPC w’e Katwe Samuel Mission eggulo yagambye nti banoonya n’omusawo amanyiddwaako erya Steven, agambibwa okuggyamu omuwala olubuto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...