TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba famire ya Mukiibi basazeewo kumutwala bweru ajjanjabibwe

Aba famire ya Mukiibi basazeewo kumutwala bweru ajjanjabibwe

Added 29th July 2016

ABA famire ya Polof. Lawrence Mukiibi basazeewo omuntu waabwe bamutwale ebweru ayongere okujjanjabibwa.

 Mukiibi

Mukiibi

Bya Ronald Mugenyi ne Ponsiano Nsimbi

ABA famire ya Polof. Lawrence Mukiibi basazeewo omuntu waabwe bamutwale ebweru ayongere okujjanjabibwa.

Kyokka abasawo b’eddwaaliro lya Norvik ku Bombo Road omulwadde mw’ajjanjabirwa, bawadde amagezi nti omulwadde nga bw’atandise okutereera, basooke bamulinde assuukire ddala olwo bamutwale ayongere okwekebejjebwa naddala omutwe ogwasinze okufuna obuzibu.

Omu ku basawo abajjanjaba Polof. Mukiibi, yategeezezza nti wadde embeera ye esanyusa, naye akyali mugonvu nga si kirungi kumulinnyisa nnyonyi mu mbeera eno gy’alimu.

Wano we baasinzidde ne bawabula aba famire basooke bamuleke amale okutereera obulungi bamwongereyo mu bakugu abalala.

Eggulo Polof. Mukiibi yabadde atandise okunywa kyokka nga tannakkirizibwa kwogera n’abantu wabula nga bonna abagendayo okumulaba abategeera bulungi ekitaabaddewo ku Lwokubiri lwe yatwaliddwa mu ddwaaliro nga yaakafuna akabenje.

Abantu ab’enjawulo abakulu mu ggwanga bagenze ne bamulambulako n’okugumya famire. Mukiibi yafunye akabenje ku Lwokubiri mmotoka ya kabangali bwe yamukoonedde e Nakasozi- Buddo ng’adda mu maka ge.

Yasooka kutwalibwa mu ddwaaliro e Lubaga gye yaggyibwa oluvannyuma n’atwalibwa mu Norvik.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Sserugga ng'abatiza omwana.

'Mwegendereze amannya ge mu...

Abazadde bakubiriziddwa bulijjo okubeera  abegendereza ennyo ku mannya ge batuuma abaana baabwe beewale okumala...

Omulabirizi Tamale n'abamu ku bannaddiini mu kusaba kwa Paasika.

Okufa kwa Ssaabasumba kutuk...

OMULABIRIZI wa West Buganda, Rt. Rev Henry Katumba Tamale ye yakulembeddemu okusinza kwa Paasika mu Lutikko ya...

Ssaabasumba Jonah Lwanga ng'asaba ku Paasika.

Eklesia y'Abasodokisi mu Ug...

EKLESIA y'Abasodokisi mu Uganda esabidde Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng'Obuganda bw'etegekera okujaguza amazaalibwa...

Rt. Rev Wilberforce Kityo Luwalira ne mukyala we,  Maama Nabagereka, Ven. Rev. Can. Jonathan Kisawuzi Namirembe eggulo.

Bp. Luwalira yeekokkodde eb...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira yeekokkodde ebikolwa ebyekko ebigenda mu maaso mu...

Omusumba w'Ekkanisa ya Revi...

Omusumba w'Ekkanisa ya Revival  Christian Church Kawaala, Andrew Jengo yeegasse ku bannaddiini okukungubagira Ssaabasumba...