TOP

Obadde okimanyi nti ebanjibwa obuwumbi 11,319?

Added 30th July 2016

OMWOGEZI wa Minisitule y’Ebyensimbi, Mugunga era yakakasizza nga Minisitule bw’eyise ababanja Gavumenti ya Uganda okwewandiisa, gavumenti esobole okumanya omuwendo omutuufu ogw’abagibanja ne ssente ze babanja basobole okusasula nga Pulezidenti bwe yalagidde.

OMWOGEZI wa Minisitule y’Ebyensimbi, Mugunga era yakakasizza nga Minisitule bw’eyise ababanja Gavumenti ya Uganda okwewandiisa, gavumenti esobole okumanya omuwendo omutuufu ogw’abagibanja ne ssente ze babanja basobole okusasula nga Pulezidenti bwe yalagidde.

Minisita w’Ebyensimbi, Matia Kasaija, bwe yabadde asoma bajeti y’eggwanga, yategeezezza nti Gavumenti erina ebbanja lya buwumbi 29,984 olw’abagibanja munda n’ebweru w’eggwanga.

Ku bbanja ery’obuwumbi 29,984, ensimbi obuwumbi 11,319 ze zibanjibwa gavumenti munda mu ggwanga wabula Kasaija, mu bajeti yataddemu obuwumbi 111 zokka okusasula ku bbanja ery’obuwumbi 11,319.

Kino kitegeeza nti ababanja gavumenti munda mu ggwanga bagenda kusasulwa obuwumbi 111 zokka ng’olukalala lwa kkampuni 66 ezigambibwa okuba nti bannyinizo amabanja gabatuuse mu bulago, baalaga nti baagala ebafunira obuwumbi 1,300 basasule amabanja agaabwe ku bwabwe. Ssente zino zisingira wala obuwumbi 800 ezassibwa mu byobulimi n’obulunzi mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi guno eyasomwa omwezi oguwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...