TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olukalala lw'abagagga abaagala okuyambibwa Gavt. n'ebibakwatako

Olukalala lw'abagagga abaagala okuyambibwa Gavt. n'ebibakwatako

Added 30th July 2016

ABAMU ku basuubuzi abaagala okuyambibwa mu mabanja ge batubiddemu kuliko:

ABAMU ku basuubuzi abaagala okuyambibwa mu mabanja ge batubiddemu kuliko:

 Ahmed Zziwa: Omugagga mu Kikuubo. Ye nnannyini kizimbe kya Skylite n’ekirala ku Luwum Street. Abanjibwa obuwumbi 10.

 Robert Mulinde omusuubuzi wa sipeeya. Alina akeedi mu Ndeeba n’ekizimbe ku Luwum okumpi ne MM Plaza ssaako ebyobugagga omuli ettaka. Abanjibwa obukadde 480.

 Emmanuel Kalwana: Ono alina ebibanda ebikyusa ssente mu Kampala. Alina amaduuka ag’enjawulo era asuubula omuceere. Abanjibwa obuwumbi 4 n’obukadde 800.

 Future Land U Ltd: Eno ya Mugagga Moses Kayongo. Alina amaduuka mu Kikuubo. Alina ebizimbe mu Kampala . Alina kkampuni ezizimba mu Kampala era ayagala gavumenti emuwe obuwumbi 26.

 M/S Frank Ssonko Ltd: Ono naye wa mu Kikuubo. Alina ekizimbe e Nakasero era y’omu ku baganda b’omugagga Ntake. Asaba kuyambibwa n’obuwumbi 3 n’obukadde 500.

 Barigye Kiremire: Alina amaduuka ag’enjawulo mu Kikuubo ng’atuusa bizigo okuva ebweru w’eggwanga. Ayagala obukadde 396.

 UTODA Awakula Ennume: Basaba bayambibwe n’obuwumbi 2 n’obukadde 300 era William Katumba (ssentebe waayo) yagambye nti bwe baba tebayambiddwa, kye bayinza okukola kwe kwongeza ebisale bya bbaasi, kikose abasaabaze baabwe bamufunampola.

 SENANA [U] LTD: Enno kkampuni ya Faridah Nabirongo era y’asinga supamaketi ye ey’amaanyi mu Kikuubo ate alina ekizimbe ku Buganda Road. Ayagala obuwumbi 27.

 Hamis Kiggundu owa Ham Enterprises alina ebizimbe bya Akeedi mu Kampala ayagala obuwumbi 33. Yalaze nti eby’obugagga by’alina bya buwumbi 100.

 Ephraim Ntaganda alina akeedi mu Kampala ayagala obuwumbi 14 n’obukadde 850. Yalaze nti ebyobugagga by’alina biweza obuwumbi 49 n’obukadde 500.

 Joseph Lutalo Bbosa omusuubuzi w’omu Kikuubo ayagala obuwumbi 3 n’ekitundu.

 George William Kajoba nnannyini Sojovalo ku Lubaga Road ayagala obuwumbi 8.

 Cissy Christine Kajumba asaba obukadde 422.

 Shamirah Nakalule asaba obukadde 306.

 Concern Global Market esaba obuwumbi 11.

 Graper Construction - obukadde 100.  Kaweesi Remmy - obukadde 800.

 Nassali Madiina asaba 165.  Isamail Jingo asaba obukadde 90.

 Stephen Mukasa - obuwumbi 10.

 Maja and Musoke - akawumbi kamu.

 Charles Ssali asaba obuwumbi 2 n’obukadde 400.

 SERENE SUITES e Mutundwe esaba obuwumbi 3.

 Confort Zoone - obuwumbi bubiri.

 M/S Clay Products - obuwumbi 5.

 Mayfl ower Investments - obuwumbi 12.

 Desh Kagonyera asaba akawumbi kamu n’obukadde 800.

 Seaba Agencies - obukadde 400.  JJ Printers asaba kawumbi kamu.

 Steel & Tube abanjiba obuwumbi 33 mu Bank of Africa n’endala awalala.

 Namunkekera Agro Farm e Nakaseke esaba obuwumbi 4 n’obukadde 800.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...