TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaka: Olusozi lw'Abengabi Kabaka gy'aggya amaanyi n'amannya ge agasinga

Ssaka: Olusozi lw'Abengabi Kabaka gy'aggya amaanyi n'amannya ge agasinga

Added 31st July 2016

Ssaka: Olusozi lw’Abengabi Kabaka gy’aggya amaanyi n’amannya ge agasinga

 Omuti Lukoma nnantawetwa

Omuti Lukoma nnantawetwa

LUULUNO olusozi Ssaka emu ku mbuga Kabaka gy’amalira emikolo gy’amatikkira ng’avudde e Naggalabi. Eno y’ensibuko y’amannya ga Kabaka agasinga.

Omutaka Ssengabi Ssendikaddiwa Yusufu, omutuuze w’e Kalamba ye Ssengabi owa 53 mu kika ky’Engabi agamba nti emikolo gino egikolebwa ku lusozi Ssaka gye giwa Kabaka obuyinza okulamula Obuganda.

Ebyafaayo by’olusozi yabitegeezezza MADIINA SSEBYALA. “Olusozi Ssaka lusangibwa ku kyalo Kalamba e Kaabasanda mu disitulikiti y’e Butambala. Kigambibwa nti Kabaka Kintu yagendayo wakati wa 1200 ne 1230.

Ssengabi Ssendikaddiwa agamba nti Kintu bwe yamala okutabaala Bemba n’amutta yakizuula nti alina okugenda e Kalamba ku lusozi Ssaka gye yaggya effumu, Ssendikaddiwa lye yamuwa n’amukuutira okulikozesa obulungi.

Ssendikaddiwa eyaliwo ebiseera ebyo yali akuutidde Kintu obutamala gayiwa musaayi gwa muntu yenna. Kabaka Kintu bwe yamutegeeza nga bwe yali afumise Katikkiro we Kisolo n’amutta tekyamusanyusa. Yamusaba okumuddiza bye yali amuwadde.

Kintu yabireeta n’addayo nga tabirina. Aba amalako olusozi Ssaka n’abulira awo era teyaddamu kulabika!

Eno y’ensibuko ya Bakabaka okugendanga ku lusozi Ssaka okukima obuyinza. Ku lusozi luno kuliko ebifo 10 Kabaka by’atuukako okutandika okulamula Obuganda. 1 Oluzzi Nnaalongo Kasota: Luno lumala ebibamba bya Kabaka.

Okulugendako Kabaka akulemberwa Balubuga ba Ssendikaddiwa ababiri nga bano b’asika nabo ku Bwassendikaddiwa. Bano kuliko Luganga ne Babiyagi. Wano Kabaka w’afunira ekyogo ekimusumulula ekiyamba okutereeza Abalangira n’Abambejja. Bino biba bigenda mu maaso nga bwe bayimba ennyimba z’abalongo.

Bw’ava mu kyogo kino aba afuuse Ssaabalongo era w’afunira n’erinnya lya Nnantanyiiga. Oluzzi luno ne Kabaka Kintu yalusangawo.

2 Bukooza: Kino kyererezi kiri mmita 20 okuva ku luzzi Nnaalongo Kasota. Wano Kabaka w’afunira ekijjulo kye ekisooka nga balubuga abamunaazizza be bamugabula. Bw’ava mu Bukooza Kabaka ayingira mu mbuga Nabugulu. Muno mwe muli obukkiro bw’obuyinza bwa Kabaka.

Bulamu ayawulizaako Kabaka obuyinza. Mu mbuga eno era kumpiamannya gonna agayitibwa Kabaka mw’agaggya.

3 Omuti Lukoma Nnantawetwa: Guno muti gwakula ng’omusota okuva wansi okutuuka waggulu. Ku muti guno Kabaka bw’atuukako afukamira olwo n’ayogeraganya ne bajjajjaabe abaamusooka okutuula ku Kiwu. Asooka kulanya obuvvo n’obuddo bwe n’alyoka ayogera ebigambo ebirala bingi ebitawandiikiddwa wano. Mu kiseera kino Ssendikaddiwa abeera ku mukono gwa Kabaka ogwa kkono. Wano Kabaka w’afunira erinnya lya Musota. Ebyembi omuti gutandise okukala kyokka gubaddewo okuva kumulembe gwa Kabaka Kintu.

4 Omuti Biteredde: Guno muti gumu omunene kyokka gwamerako emirala egisukka mu etaano. Wano Kabaka w’afunira ebimufuula ow’amaanyi. Mu muti mulimu empuku omusula omusota. Wano we wava erinnya lya Ssebunnyabwamusotatebusongwamulunwe.

5 Embuga ya Nabugulu: Kabaka ng’akyali wano afukamira ku muti oguyitibwa Kaziringulabinene. Omuti guliko ekitundu ekyeyawula ng’ekisenge. Kabaka bamutuuza ku kiwu nga yeesigamye omuti nga mu maaso waliwo ekyoto okuli akabaani n’omuliro. Kabaka wano atuuzibwa ayambibwako Ssendikaddiwa nga bw’amulaamiriza nti Wokota Wokota.

6 Oluzzi kanywomu: Luno oluzzi lwali lwa nnyana ya Kabaka Kintu eyalundibwanga Kipapi Kannyana. Wano ente za Kabaka we zaasinziiranga okufuna amazzi. Kabaka bw’agenda ku lusozi luno kyongera okunyweza obulunzi bw’ente mu Buganda kubanga Kabaka Kintu nga tanajja Abaganda baalundanga mbuzi.

7 Oluzzi Kimirante: Luno kwe baanywesezanga ente ya Kabaka Kintu eyitibwa Nsigo nke. Omulunzi waayo omukulu ye mwana wa Ssendikaddiwa Mutaawe. Oluzzi luno lukyaliwo.

8 Kabaka ng’avudde ku Luzzi Kimirante, Ssendikaddiwa amutwala ku ntebe ya Kintu ne bamusumika eddiba ly’empologoma ensajja eriyitibwa Lukomannantawetwa. Empologoma eyiggibwa omwana wa Ssendikaddiwa Kisolo kya muwunda.

Empologoma eggyibwamu eby’omunda byonna olwo Ssendikaddiwa n’alisumika Kabaka ng’atudde ku ntebe ya Kintu nga bw’amugamba nti ‘’ ggwe mpologoma nga bombi batunuuliraganye. Amukwasa effumu n’amuwa n’omwenge . nga bw’alaamiriza nti nywera ebinywera bye bigenda.

9 Ssemyeso: Nga Kabaka amaze okutuuzibwa ku Binywera, mu bwangu Kabaka ayesa omweso empiki zaagwo zibeera ziteereddwaamu Ssendikaddiwa. Kabaka omweso aguzannya ne Ssendikaddiwa. Kabaka omweso agutema butemi. Kano kabeera kabonero akalaga nti okufuga Buganda kigenda kumubeerera kyangu ng’ayesa omweso

10 Kigabiro: Eno mmeeza Kintu ne Ssendikaddiwa kwe batuula bombi ensonga ne bazimalira ku mmeeza eno ya jjinja eryetooloovu Abengabi bagamba nti liri mu makkati g’ensi         Lwaki Ssengabi Ssendikaddiwa yeeyita Mutaka  

OMUTAKA Ssendikaddiwa Yusufu Bisaalu agamba y’akulira engabi enjeru. Agamba nti ensonga ez’okubatongoza ng’ekika ziri wa Kabaka. Fayiro yaabwe mu kkooti ya Kisekwa yavaayo dda. Tulindiridde Kabaka asiime tusobole okumukolako emikolo gyaffe.

Agamba nti Abengabi eno be bayunzi ba Kabaka abakulu kubanga Mutaawe Kannyana omukulu w’ekika ky’Engabi ennyunga aliko kati mwana wa Ssengabi Ssendikaddiwa kyokka ate ye yatongozebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...