
Abaakwatiddwa ku poliisi y’e Lungujja.
ABABBI baayingidde mu kikomera e Lungujja ne babba emmotoka ekika kya Noah ey’omuyimbi Rhoda Nakabiri ‘Rhoda K’ (eyayimba ‘Buli kimu clear’ ng’ali ne Pallaso mu kibiina kya Team Good Music).
Yagambye nti yabadde asuze wa kitaawe omulwadde.
Baaloopye ku poliisi y’e Lungujja ne baggulawo omusango n’okuyisa ebirango ku mikutu g’empuliziganya.
Agamba nti Brian Kizito omukwasi w’ennyimba ye yalabye emmotoka eno mu kikomera ky’essomero lya Kampala Education Centre e Katooke we yabadde ayita.
Nakabiri yamwegasseeko ne bakubira poliisi y’e Katooke eyazze n’ekwata abaagibaddeko okuli; Sulaiman Okware, David Kalule ab’e Nateete ne Bashir Kakeeto ow’e Kasubi.
Bagguddwaako ogw’obubbi ku fayiro SD: 02/25/7/2016 ku poliisi e Lungujja.