TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Museveni avumiridde ebikolwa bya Poliisi eby'okutulugunya abantu

Museveni avumiridde ebikolwa bya Poliisi eby'okutulugunya abantu

Added 1st August 2016

PULEZIDENTI Museveni avumiridde ebikolwa bya poliisi eby’okutulugunya abantu, n’avumirira ne Dr. Kizza Besigye olw’okweyisa mu ngeri eteri ya buvunaanyizibwa.

 Pulezidenti Museveni ng'ayogerera mu lukung'aana e Kyankwanzi

Pulezidenti Museveni ng'ayogerera mu lukung'aana e Kyankwanzi

PULEZIDENTI Museveni avumiridde ebikolwa bya poliisi eby’okutulugunya abantu, n’avumirira ne Dr. Kizza Besigye olw’okweyisa mu ngeri eteri ya buvunaanyizibwa.

Bino yabyogeredde Kyankwanzi bwe yabadde aggalawo olusirika lwa baminisita, abawandiisi b’enkalakkalira awamu n’abakulembeze ba NRM ab’oku ntikko olumaze wiiki ennamba.

Museveni yagambye nti tawagira bikolwa bya poliisi kukuba bantu kibooko, kyokka n’ategeeza nti obuzibu obusinga buli ku Dr. Kizza Besigye ng’omuntu.

Yategeezezza nti y’ensonga lwaki bannabyabufuzi b’oludda oluvuganya abalala bangi tewali abakwatako. “Sinnawulira poliisi ng’erina obuzibu ku Cecilia Ogwal, DP ya Mao oba aba UPC.

Kino kyongera okukulaga nti Besigye y’alina obuzibu, tayagala kugoberera mateeka,” Museveni bwe yagambye.

N’ayongerako nti olunaku lwe bagamba poliisi lwe yakuba abantu kibooko Besigye ng’ayimbuddwa, teyali mu ggwanga era tannafuna budde kwetegereza byaliwo.

Yayongeddeko nti abantu bwe baba nga baali bakuumye emirembe, awo poliisi yali nkyamu okubakuba.

Kyokka bwe babeera nga baali bakasukira poliisi amayinja, poliisi yalina okubakolako.

Yategeezezza nti abantu bayinza okuba mu mirembe, kyokka ng’okukuηηaana kwabwe kumenya amateeka.

Pulezidenti yategeezezza nti poliisi ng’egumbulula abantu waliwo ebintu by’erina okukozesa omuli batuuni, embooko, amazzi agabalagala, amasasi ag’ebipiira n’amasasi gennyini singa babeera boonoona ebintu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu