TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakyewaggula ba Machar balumbye ffaamu ya Kiir ne batta abakuumi be

Bakyewaggula ba Machar balumbye ffaamu ya Kiir ne batta abakuumi be

Added 1st August 2016

ABALWANYI ba Dr. Machar bakoze olulumba olutiisizza enkambi ya Pulezidenti Salva Kiir. Bakubye ffaamu ya Kiir ne battirawo abakuumi be kkumi ne bawamba loole n’ebimotoka by’amagye 21.

 Abatuuze nga badduka mu kibuga Juba.

Abatuuze nga badduka mu kibuga Juba.

JUBA: SOUTH SUDAN

ABALWANYI ba Dr. Machar bakoze olulumba olutiisizza enkambi ya Pulezidenti Salva Kiir. Bakubye ffaamu ya Kiir ne battirawo abakuumi be kkumi ne bawamba loole n’ebimotoka by’amagye 21.

Mu ngeri ey’ejjoogo, batutte ente za Salva Kiir ezisukka mu 200 ze baasanze ku ffaamu, olwo ne bazitikka ku loole ze baasoose okuwamba ne basimbula nga boolekedde Juba. Ffaamu gye baalumbye mu kiro ky’Olwomukaaga esangibwa Luri, Mayiro 64 okuva mu kibuga Juba.

Ekitundu ky’e Luri n’ekibuga Juba, byombi bisangibwa mu ssaza lya Central Equatoria. Ffaamu ya Kiir ey’e Luri eriko ente ezisukka mu 4,000, era ekuumibwa eggye erikuuma Pulezidenti eriyitibwa ‘Tiger Battalion’.

Ku ffaamu eno kuliko ebyokulwanyisa omuli ttanka, emmundu n’ebimotoka by’amagye kyokka aba Machar baabazinduukirizza ne bawamba n’ebimu ku byokulwanyisa.

James Gatdet Dak omwogezi wa Machar, yategezezza nti olulumba luno abalwanyi baabwe lwe baakoze e Luri lwavuddemu ebibala kubanga baasobodde okuwamba loole n’emmotoka z’amagye 21, kwe baatisse ebyokulwanyisa, ente n’emmere bye bawambye bibayambeko mu kaweefube w’okuvuunika gavumenti ya Kiir gwe baliko.

Abamagye n’abakozi ku faamu ya Kiir bangi baafunye ebisago ne batwalibwa mu ddwaaliro lya Juba Teaching Hospital.

Abasawo mu ddwaaliro eryo baategeezezza nti abajaasi 17 ab’eggye lya Salva Kiir baatwaliddwayo nga balina ebiwundu ku mitwe, emikono n’amagulu era eggulo Kiir yagenzeeyo okubalabako n’okubasaasira.

Ezimu ku nte ku ffaamu ya Kiir.

 

KIIR AYUNGUDDE ENNYONYI NE TTANKA

Kiir olwafunye amawulire g’okulumba ffaamu ye ne bamuttira abakuumi, kwe kuyungula ennyonyi ennwaanyi ne ttanka okukola ku be yayise bakyewaggula.

We bwazibidde eggulo ng’ennyonyi ne ttanka zaakakuba enfo musanvu ze bagamba nti abalwanyi ba Machar mwe basinziira okukola entegeka ezirumba Juba.

Ennyonnyi ennwaanyi ez’ekika kya Mi17 ze zaasoose okusuula bbomu mu bibira okuli ekkuumiro ly’ebisolo erya Bandingilo National Park, n’ensiko endala eziri mu bitundu by’e Wonduruba, Lainya, Mundri, Loka, Terkeke, ne Ji-Meje.

Wadde enfo ezo zaakubiddwa, emikutu gy’amawulire e South Sudan giraze nti abalwanyi ba Machar baabadde beebunguludde ekibuga Juba era ng’amasasi gavuga olutatadde ku nkingizzi zaakyo mu kulwanagana n’aba Salva Kiir.

Eggulo Pulezidenti Kiir yakedde kuyungula ekibinja ky’abajaasi abalala 3,000 okusaggula aba Machar mu nsiko n’ebibira ebyomu ssaza ly’e Central Equatorial, Machar gy’agambibwa okwekukuma n’abalwanyi be abasukka mu 1,300.

Omukutu gw’amawulire ogwa Sudan Tribune gwategeezezza nti olulumba ku nfo za Machar naddala e Lainya ne Mundri lwaduumiddwa omuduumizi w’amagye ga SPLA Gen. Paul Malong Awan.

JUBA TUKYEBUNGULUDDE’

Abantu mu bitundu ebyalumbiddwa amagye ga SPLA, baatandise okusibamu ebyaguwa olwa bbomu n’emizinga egy’amaanyi bakira egiboggola.

Gavumenti ya Kiir yagugumbudde abalwanyi ba Machar nti bwe bakola ennumba battiramu abantu baabulijjo.

Machar eyali omumyuka wa Pulezidenti yatabuse ne mukamaawe Kiir omwezi oguwedde era olutalo ne lutandika mu South Sudan wakati w’abawagira Machar abaagala okuvuunika gavumenti ya Kiir. Dr. Machar yategeezezza ku Ssande nti abajaasi be basensedde essaza Central Equatoria era ekibuga Juba bamaze okukyetoloola.

Wabula agambye nti tannayagala kukola lulumba luwamba Juba ng’alinda amagye ag’omukago gw’amawanga ag’omuliraano okusindikibwa e Juba nga bwe kyasalibwawo mu lukuhhaana lwa AU olwatudde e Kigali, Rwanda omwezi oguwedde.

Machar ng’asinziira mu kifo ekyekusifu yategeezezza omukutu gw’amawulire gwa Turkish Anadolu Agency nti singa amagye g’omukago galwawo okusindikibwa e Juba, tagenda kubeera na kyakukola okuggyako okukola olulumba ssinziggu awambe ekibuga Juba kubanga amagye ga Kiir gasusse okumusosonkereza.

Yagambye nti alina abalwanyi abalala abasukka mu 15,000 nga mulimu n’abajaasi abatendeke era alina n’obuwagizi bw’abantu baabulijjo abali mu bukadde abakooye ettemu n’effuga bbi lya Kiir.

Emu ku ttanka aba SPLA ze bakozesa mu lutalo.

 

MACHAR ALONZE GENERO OKUDUUMIRA OLUTALO

Machar alonze munnamagye Lt. Gen. John Jok Gai okuduumirwa olutalo mu ssaza lya Central Equatoria omusangibwa ekibuga Juba.

Omwogezi wa Machar, James Gatdet Dak, yategeezezza nti Lt. Gen. Gai yalondeddwa Machar ku Ssande okuduumira olutalo mu Central Equatoria. Lt. Gen. Gai, yakwasiddwa obuvunaanyizibwa okukola pulaani y’olutalo n’enteekateeka ez’okuwamba ekibuga Juba mu bbanga ttono nnyo okwewala embeera y’abantu baabulijjo okufiirwa obulamu n’ebintu byabwe.

Gai y’omu ku boofiisa abakambwe abaali mu ggye lya SPLA wabula n’afuna obutakkaanya ne Kiir ne yeegatta ku Machar. Yeetaba mu lutalo lwa SPLA olwatandika mu 1983 wansi w’omugenzi John Garang.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...