TOP

Babakutte n'emmotoka y'omuyimbi

Added 1st August 2016

Babakutte n’emmotoka y’omuyimbi

ABABBI baayingidde mu kikomera e Lungujja ne babba emmotoka ekika kya Noah ey’omuyimbi Rhoda Nakabiri ‘Rhoda K’ (eyayimba ‘Buli kimu clear’ ng’ali ne Pallaso mu kibiina kya Team Good Music).

Yagambye nti yabadde asuze wa kitaawe omulwadde. Baaloopye ku poliisi y’e Lungujja ne baggulawo omusango n’okuyisa ebirango ku mikutu g’empuliziganya.

Agamba nti Brian Kizito omukwasi w’ennyimba ye yalabye emmotoka eno mu kikomera ky’essomero lya Kampala Education Centre e Katooke we yabadde ayita.

Nakabiri yamwegasseeko ne bakubira poliisi y’e Katooke eyazze n’ekwata abaagibaddeko okuli; Sulaiman Okware, David Kalule ab’e Nateete ne Bashir Kakeeto ow’e Kasubi. Bagguddwaako ogw’obubbi ku fayiro SD: 02/25/7/2016 ku poliisi e Lungujja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...