TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababba abantu b'omu Bunyoro ku 'mobile money' babakutte

Ababba abantu b'omu Bunyoro ku 'mobile money' babakutte

Added 3rd August 2016

Ababba abantu b’omu Bunyoro ku ‘mobile money’ babakutte

 Abaakwatiddwa

Abaakwatiddwa

AB’EKITONGOLE kya Poliisi ekya Flying Squad mu Bunyoro baazingizza abasajja mukaaga abaabadde badduka emisango gye baakola mu bitundu by’e Bunyoro mwe bagambirwa okubba ssente ku ‘mobile money’.

Okukwatibwa kyavudde mu batuuze naddala aba bizinensi za ‘mobile money’ mu kitundu ky’e Bunyoro ekikolwa disitulikiti; Hoima, Kiryandongo, Buliisa, Masindi ne Kibaale okwekubira enduulu ku basajja abatambulira mu mmotoka ekika kya Premio abasusse okubabba.

Abaakwatiddwa kuliko; Moses Bazibu, 32, Isaac Monge 25, Hakim Mudori 22, Billy Enock Waninga Muwata 25, nga bonna batuuze kuva mu munisipaali y’e Mbale ssaako Yusuf Mafabi oluusi eyeeyita Ssekito 19, okuva mu munisipaali y’e Lubaga - Kampala. Baabadde batambulira mu mmotoka kika kya Premio nnamba UAN 519T.

Kigambibwa nti baliko aba ‘mobile money’ be baali baanyanga ssente ku masimu mu kakodyo k’okubafera bwe baamala ne balinnya mmotoka yaabwe okwolekera Kiryandongo. Omutuuze Caroline Kinene ye yatemya ku poliisi y’e Hoima nayo n’etemya ku poliisi y’e Masindi ne Kiryandongo ne batandikirawo okubayigga.

Kigambibwa nti baali babbye obukadde 9 mu ssente enkalu n’obukadde 3 ku ‘Mobile money’. Baasangiddwa ne ssente enkalu eziweza akakadde kamu n’emitwalo 20. Mmotoka yatwaliddwa ku poliisi. Akulira poliisi mu Bugwanjuba Julius Hakiza yategeezezza nti baabakwasizza poliisi y’e Hoima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'cokoleti'

Omufumbi wa Kkwiini ayoged...

KKWIINI Elizabeth II ayagala kkeeki erimu ekirungo kya ‘chocolate' wabula okusinziira ku biragiro by'abasawo waakiri...

Fr. Anthony Musaala (ku ddyo) ng’abuuza ku Kiwanda ne Ying. Joseph Ssewava oluvannyuma lwa Mmisa mu Lutikko e Lubaga.

▶️ Mutusonyiwe bye twayog...

AMYUKA ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetondedde Eklezia olw'okusowagana okwaliwo mu kiseera...

Abamu ku batuuze nga bali mu maka g’omubaka Betty Nambooze (mu katono).

Ab'e Kigombya balabudde Gav...

ABATUUZE ku kyalo Kigombya mu disitulikiti y'e Mukono, bawadde gavumenti nsalessale ya myezi ena okutuuka mu mwezi...

Emmotoka ya Kyagulanyi (mu katono) empya.

Enkalu zeeyongedde ku mmoto...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole...

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Ekiraamo kya Muzaata kirees...

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera...