TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi apepeya ne Ssekamatte azzeeyo ew'eyali bba agabane ebintu ebirala: 'Ampe endagaano y'ekibinja'

Omukazi apepeya ne Ssekamatte azzeeyo ew'eyali bba agabane ebintu ebirala: 'Ampe endagaano y'ekibinja'

Added 5th August 2016

IDAH Namala apepeya n’omuyimbi Grace Ssekamatte azzeemu okugugulana n’eyali bba era taata w’abaana be ababiri, Sula Mubiru.

 Ssekamatte ng’apepeya ne Namara. Ku ddyo, Mubiru ng’akyali mu mukwano ne Namara.

Ssekamatte ng’apepeya ne Namara. Ku ddyo, Mubiru ng’akyali mu mukwano ne Namara.

IDAH Namala apepeya n’omuyimbi Grace Ssekamatte azzeemu okugugulana n’eyali bba era taata w’abaana be ababiri, Sula Mubiru.

Namara abamu gwe bamanyi nga Yudayah atutte Mubiru ku poliisi ya CPS mu Kampala ng’ayagala emukake amuwe endagaano y’ekibanja ekya yiika esatu e Bukanga mu disitulikiti y’e Isingiro ssaako okulabira abaana.

Wabula Mubiru omutuuze w’e Ndejje ku Zanta akalambidde, agamba nti okuwa Namara endagaano y’ekibanja ng’amaze kumuwa ssente obukadde 3 ze yamwewolera ate ku ky’abaana agamba tayinza kumuwa ssente za kubalabira kubanga nazo ayinza okuzicakalamu ne Ssekamatte.

Wano w’asinzidde okumusaba abaana be abalabirire kuba bakuze ng’omukulu ali mu S1 ate addako ali mu P4.

Endagaano kwe baayawukanira ne bagabana ebintu.

 

“Abaana bange bakulidde mu kibuga naye olwa Namara okwagala okucakala ne Ssekamatte kati yabatwala mu kyalo e Ishaka bali eyo babonaabona. Baali basomera mu masomero okuli Hillside Naalya ne Cream Land e Ndejje kyokka kati basomera mu kyalo. Namwewolera obukadde busatu nga yali ayagala obukadde 6 kati ayagala bannannyini ssente mbasasuze ki nga bammanja,” Mubiru bwe yagambye.

Bano baayawukana ku ntandikwa y’omwaka guno oluvannyuma lwa Ssekamatte owa Golden Band okutandika okupepeya ne Namara ekyaleetawo okutabuka ne Mubiru era wabaddewo olutalo lwa maanyi era wakati n’okusika omuguwa ekyabaawukanya nga baakabawoowa yadde baali bamaze mu bufumbo emyaka 16.

Wadde Mubiru alaga ebifaananyi by’omukolo gw’okubawoowa, Namara agamba gwali gwa kukyala ye eby’okubawoowa tabimanyi.

Mubiru agamba nti Namara yatwala eby’omu nju.

 

Nga January 5, 2016 baakola endagaano ‘tontabaalanga nange sirikutabala’ Namara n’atwala ebyobugagga ebiwerako okuli n’enju z’abapangisa za mirundi ebiri e Ndejje Kibutika ssaako ‘okwera’ ebintu by’omu nju eby’ebbeeyi omusajja n’amulekeramu kitanda kya mu kisenge kyokka.

Mubiru agamba nti alina ennyiike omukazi okumutwalako ebintu bye yali ataddemu obudde ne ssente ekimuzizza emabega nga kati n’emmotoka gy’avuga ekika kya Primeo nga yagifunira ku bbanja so nga yali yeevugira mmotoka za bbeeyi.

Mubiru era akukkulumidde Ssekamatte gw’agamba nti takomye ku kya kusigula Namara naye amuliddeko ne ssente zonna ze yagenda nazo n’azimalawo ekivuddeko Namara okuddamu okukaayanira ebintu ebirala.

“Nze namugamba nti eyo gy’ogenze ayagala bakyala abalina ssente bwe ziggwaawo nga ne laavu eggwaawo era kati y’embeera gy’alimu. Mu kunoonyereza kwenkoze nkizudde nti ne poloti omuli amayumba g’abapangisa e Ndejje zaatundibwa ssente ne bazikozesa. Endala baakolamu ebbaala ku Explorer nayo n’egwa ate kati ayagala ssente ndala,’’ bwe yeemuluunyizza.

Agamba nti yasuula n’edduuka ly’ebitabo erya Najja Bookshop lye yamukolera e Najjanankumbi so nga n’emmotoka ez’omulembe ze yamugulira tezikyalabikako.

NAMARA AYOGEDDE

Bwe yatuukiriddwa ku ssimu, Namara obwedda ayanukuza obusungu yasoose kugamba nti yakoowa erinnya lya Sula Mubiru era tayagala na kuwuliza kimufaako.

Mubiru (ku kkono) lwe yawoowebwa ne Namara (ku ddyo).

 

“Naye omusajja oyo ambeeredde ki, takimanyi nti nakoowa embeera embi era namumala nze ndi mu bulamu bupya era saagala kunjogerako.

Okubeera omukazi omulungi era anyirira nazza musango ye lwaki tafuna mukazi mulala erinnya lyange alyesonyiwe bwaba ayagala balungi gyebali n’abansinga.

Nze mwagaza ekintu kimu ampe endagaano y’ekibanja mpulira ayagala kukitunda ate nga kyange nze nnakigula era kiri mu mannya gange.

Bw’aba alowooza nti okulemera endagaano kiyinza okunziza ewuwe aswadde!”

Awakanyizza n’ebya Mubiru okumwewolera ssente ng’agamba nti bw’aba alina obuwandiike bwonna obukakasa abuleete era ne ssente ezoogerwako tazimanyi.

Ku bigambibwa nti ateekateeka mukolo gwa kwanjula Ssekamatte, Namara abiwakanyizza ng’agamba nti ebyo bigambo bya bantu, ye pulaani gy’alina ya kulinnya nnyonyi agende e Bulaaya. Wabula yagaanyi okwogera ku ky’abaana.

MUBIRU AYAGALA POLIISI EBAAWUKANYE

Yadde nga baakola endagaano mu maaso g’aba LC, Mubiru agamba nti kirabika eno Namara agaanyi okugigoberera bw’azzeemu okumusojja kati ayagala poliisi eyite famire ku njuyi zombi baawukane mu mirembe amuwe n’abaana be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...

Mutuulakungo alaze bwe yate...

OMUSAMIZE Mutuulakungo eyatendeka Augustine Yiga Abizzaayo okutetenkanya ekibuga alaze engeri gye yamubangulamu...