TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Lyantodde bababuuliridde ku butabanguko mu maka

Ab'e Lyantodde bababuuliridde ku butabanguko mu maka

Added 15th August 2016

Ab'elyantodde bababuuliridde ku butabanguko mu maka

OMUBAKA w’omusumba w’essaza ly’e Masaka  Rev Fr George William Sserwanga okuva mu kigo kye Katigondo yennyamidde ku butabanguko obuyitiridde mu maka obuviirideko ettemu okweyongera mu ggwanga.

Msgr Fr Sserwanga okwogera bino yasinzidde ku mukolo gw’okukuza olunaku lwa Dinale okuva mu bigo mukaaga okuli Katovu,Kyazanga,Kaliro,Busibo,Mbiriizi,ne Lyantonde,ogwakuziddwa ku kigo kye Kijjukizo mu tawuni kanso ye  Lyantonde.

Msgr Fr Sserwanga yagambye nti ebyenfuna mu maka bye biviriddeko obutabanguko ekintu eky’obulabe ennyo ekivaako enjuuyi z’ombi obutakwatagana olwo amafumu n'amajambiya ne babiggyayo ng'ekyokulwanyisa.

Kino yakitadde ku bantu abatalina ddiini mu mitima gyabwe beyayise “abakaafiiri” n'asaba abazadde okukuliza abaana baabwe mu ddiini eggwanga lisobole okutereera okuggwamu ebikolobero eby’ettemu ebibalukawo buli lukya.  

Kuno yagaseeko eky’omuwendo gw’abaana abayitiridde okunguudo nga kivudde ku bakadde babwe ababagobaganya awakanga bano bavirideko okwenyigira mu mize emibi omuli okunywa enjaga,amayirunji n’okubba.

Mungeri  y’emu yakalatidde abakulembeze ku mitendera egyenjawulo omuli ababaka pa paramenti baleme kwesibira mu kampala badde mu balonzi nga babaletera emisomo egirambika akabi akava mu butabanguko awamu n’ebirungi ebiri mu bumu.

Msgr Sserwanga yagasse emigogo gy'abagole ena ( 4 ) eggyakubye ekiragaano ky’obufumbo obutukuvu n’abaana makumi ataano ( 50 )abaatikiddwa kalimwezi esooka nga bano yabakubirizza okutya bakadde baabwe awamu ne katonda.  

Ku mukolo gwe gumu omubaka omukazi owa Lyantonde Pauline Kemirembe n’ababaka okuva munsonda ez’enjawulo baamwebalizzaako  Katonda okumuwanguza ekifo kino era yawaddeyo obukadde 15 buyambe mu kuzimba ekigo ky'ekijjukizo.

Omubaka Kemirembe yasinzidde ku mukolo guno n'alabula abazadde okukomya okufumbiza abaana abato olw’okuba baagala ezamangu kyagambye nti  kyongedde  obutabanguko okweyongera mu maka ababiri bano bwe bazuula nti gwalina teyali lubirizirwe .

 Mungeri y’emu yennyamidde ku muwendo gw’abantu abalina akawuka okweyongera mu Lyantonde n'asaba bekikwatako bamuyambeko bagobe Bamalaaya abajjudde mu mabaala bano nga be baviriddeko okusaasanya obulwadde.

Yakubirizza abavubuka okwenyigira mu kukola bave mu kutunuulira ebya bakadde awamu n’okukomya okukozesa ebiragalalagala ebibaviriddeko okuteeka obulamu bwabwe mu matigga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Philly Bongoley Lutaaya eyasooka okwerangirira mu Uganda nga bwalina siriimu.

▶️ Omututumufu ku Bukedde F...

Omututumufu;Leero tukuleetedde Uganda by'etuuseeko mu myaka 35 gavumenti ya Pulezidenti Museveni gy'emaze mu buyinza...

Everest Kayondo

▶️ Mu byobusuubuzi ku Buked...

Mulimu Ssentebe w'abasuubuzi Everest Kayondo ng'asaba okubaawo enteeseganya wakati w'abasuubuzi ne bannannyini...

Biden n'embwa ye.

Biden aleese embwa ze mu Wh...

JOE Biden 78, akomezzaawo akalombolombo ka bapulezidenti ba Amerika ne ffamire zaabwe okubeera n'embwa oba ebisolo...

Abakyala nga basanyukira Ashraf Nasser owa NRM awangudde ekya meeya wa jinja Southern division.

Owa NRM awangudde obwameeya...

ASHRAF Nasser ow'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) awangudde ekifo kya Meeya wa Jinja Southern Division....

Nakidde n'abawagizi be nga b'atabuse.

Bamuwadde fotokopi eriko eb...

Wabaddewo olutalo mu kulangirira obululu mu zooni ya Kironde e Kabowa,  mu munisipaali y'e Lubaga, omu ku beesimbyewo...