
Omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda ng'ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi ku Mmande.
BANNA kya FDC balabudde Museveni okubeera omwegendereza ennyo ku mulundi guno mu kulonda abakulira akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga.
Bino byogeddwa Ibrahim Ssemujju Nganda bw'abadde mu lukiiko ne bannamawulire ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi ku Mmande.
Nganda ategeezezza nti kyenkana ababaka ataano (50) be bakaggyibwa mu Palamenti lwa mivuyo gy'akulira kakiiko k'ebyokulonda, Pulezidenti gwe yalonda gy'akola.
Agambye nti ku mulundi guno tebaagala Museveni akemebwe addemu okulonda abakulembeze b'akakiiko k'okulonda nga bwe yabalonda luli era n'asaba wateekebwewo emitendera egigobererwa enaaleeta abakulira era kibeere ekitongole ekyayimirizaawo kyokka.
Mu ngeri y'emu, Nganda asabye ekitongole ekiramuzi okukozesa obuyinza bwakyo kibeereko bye kikola ku Gen. Kayihura okulaba ng'atwalibwa mu kkooti avunaanibwe kuba naye tali waggulu w'amateeka.
Ayongeddeko nti Kayihura asasulwa ssente okukuuma eddembe mu ggwanga naye atandise kulityoboola era wano w'asinzidde n'akowoola Ssaabalamuzi, Bart Katureebe abeeko ky'akola kuba alina n'obuyinza obusibisa Kayihura kuba era y'alina amateeka agamufuga.