
Abamegganyi b'e Butambala nga beegazaamu
ABAMMEGANYI be ssaza lya Butambala bamaze okutendekebwa ne bawera okumegga amasaza amalala gonna nti kuba bayungudde ba musaayi muto bokka.
Okusinziira ku mutendesi w’omuzannyo gwe kigo ggumbya ekya Bukedde Saadi Ssebalemba ategeezezza nti abazannyibe bonna beetegese bulungi era nti bakomekkereza okutendekebwa basobole okufuna akaseera k'okuwummula batuuke ku ssande nga bali kawerette.
Ayongeddeko nti mu tiimu ye yonna temuli muntu ali waggulu wa myaka asatu era nti akimanyi bulungi nti tebayinza butawangula kyapa kuba bonna bamusaayi muto.
Tumaze emyazi nga tutendekebwa obukodyo obw'enjawulo okwo gattako okulya obulungi ng'ate tetukozesa bintu byonna bitamiiza era sisuubirayo muntu ayinza kumegga baana bange kuba obukodyo bwonna nabubamaliddeyo bwatyo SSebalemba bwategezeza.
Wabula kyensaba banna Butambala kwekujjumbira okugenda e Mpigi ku kisaawe batuwagire abamegganyi baffe basobole okuddamu amaanyi agamegga amasaza gonna getugenda okuttunka nago.
Empaka z’ekigwo ggumbya zigenda kubeera mu kisaawe e Mpigi ku sande eno nga 21 era nga zakwetabwamu amasaza ataano okuli essaza lya Mawokota,Butambala,Gomba,Ssese ne Kyadondo era anaaziwangula wakutwala ekyapa n'ebirabo ebirala bingi.