TOP
  • Home
  • Essomero
  • Abayizi okugwa ebigezo oluusi kiva ku butamanya kusoma

Abayizi okugwa ebigezo oluusi kiva ku butamanya kusoma

Added 22nd August 2016

Abakugu bagamba nti omwana ayanguyirwa okuyiga okusoma n’okuwandiika ssinga abeera n’obutabo bw’asoma, awaka w’abeera ne ku ssomero gy’asoma.

 Omwana ng’asoma akatabo k’Oluganda.

Omwana ng’asoma akatabo k’Oluganda.

Abakugu bagamba nti omwana ayanguyirwa okuyiga okusoma n’okuwandiika ssinga abeera n’obutabo bw’asoma, awaka w’abeera ne ku ssomero gy’asoma.

Ebyavudde mu kunoonyereza okwakolebwa ku bitabo mu nnimi ennansi eby’abaana abato okuva ku nassale okutuuka ku kibiina ekyokusatu biraga nti Uganda erina obuzibu kubanga omuwendo gw’ebitabo bino mu nnimi ennansi gukyali wansi ate nga bo abaana aba nassale kumpi tebalina bitabo bya nnimi ennansi ebibayigiriza okusoma bwino.

Okunoonyereza kuno (Survey of Children’s Reading Materials in African Languages in 11 Countries) kwakolebwa ekitongole ekinoonyereza ekya ‘Research Triangle International (RTI) mu 2014 nga kiri wamu ne banywanyi baakyo abalala nga kwazuula ebitabo ebiri mu nnimi ennansi 33 eza Uganda.

Mu nnimi endala tewaazuulwayo kitabo Ennimi ezaasinze okuba n’ebisomebwa abaana abato mwabaddemu Oluganda 182, Olulugwala (Lugbara) 82 n’Olulahho (Lango) 72.

Uganda yatandika enkola esomesa abaana mu nnimi ennansi okuva mu kibiina ekisooka okutuuka mu Kyokusatu, mu 2007 ng’egenderera okwagazisa n’okwanguyiza omuyizi okuyiga okusoma ng’atandikira mu lulimi lwe olukozesebwa awaka n’abantu mu kitundu mw’abeera.

Kyokka ekimu ku bikyalemesezza enkola eno okuvaamu ebibala eby’omuzinzi ebyali bisuubirwa kwe kuba nti ebitabo by’ennimi ennansi ebyetaagisa okukozesebwa abaana bano abato ebiriwo tebimala.

  • Okunoonyereza kwazudde nti ebitabo ebiyigiriza abaana okusoma mu nnimi ennansi bikyali bitono ng’ebitabo ebyazuuliddwa mu kiti kino byabadde 786 mu nnimi 33 eza Uganda ng’ebisinga byebyo ebikozesebwa mu kusomesa mu kibiina. Ebitabo ebiriwo tebimala kutuukiriza ekigendererwa ky’abaana okuyiga okusoma n’okuwandiika mu nnimi zaabwe. N’ebyo ebitabo ebitono ebiriwo si kyangu kubibunyisa eri abandibisomye kubanga ebbeeyi y’okubikuba mu kyapa eri waggulu ate nga ne bannyinibyo tebabissa mu nkola ey’olukale esobozesa abalina obusobozi okubizaaza ne byeyongera okwala.
  • Lipoota eno eraga nti emu ku nsonga ezivuddeko ebitabo by’ennimi ennansi ebisomebwa abaana bano abato okuba ebitono be bazadde abataagala nnimi zaabwe nga bagamba nti zireeta enjawukana,
  • Bbeeyi y’okukuba ebitabo okuba waggulu nayo eremesa okukuba ebitabo naddala mu nnimi ezoogerwa abantu abatono. Obutabaawo bitabo bisomebwa bimala y’emu ku nsonga lwaki omuwendo gw’abaana abamanyi okusoma bwino era abategeera bye baba basomye gukyali wansi. Okunoonyereza okwakolebwa mu 2009 ku baana 927 ab’ekibiina ekyokusatu mu Uganda kwalaga nti abaana ebitundu 26 ku buli 100 okusoma kwabalemera ddala ne bafuna zero ate abaana 38 ku buli 100 nga bye basoma bw’obibabuuza bakulaga nti tebabitegeera. Abaana 6 ku buli 100 be bokka abaalaga nti basobola okusoma bwino ne bategeera bye basoma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...