TOP
  • Home
  • Agawano
  • Katikkiro aweze okufafaagana n'abaatutte Kabaka mu kkooti

Katikkiro aweze okufafaagana n'abaatutte Kabaka mu kkooti

Added 22nd August 2016

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga aweze okufaafagana n’abantu abatandise okujolonga ekitiibwa nga Kabaka nga bamutwala mu kkooti ku nsonga z’okuwandiisa abantu ku ttaka nagamba nti tajja kubagumikkiriza.

 Katikkiro Charles Peter Mayiga aweze okufafaagana n'abo abaatwala Kabaka mu kkooti ku nsonga z'okuwandiisa abantu abali ku ttaka ly'Obwakabaka era n'avumirira ebikolwa bya poliisi omuli okutulugunya abantu wamu n'okutataganya emirimu gya kkooti. Yasinzidde mu Lutuula olusooka olw'olukiiko lwa Buganda olwa 24 e Bulange-Mmengo nga 22/8/2016.

Mayiga eyakangudde ku ddoboozi ng’akaatiriza ensonga eno yagambye nti “ Waliwo abatandise okutwesonsasonsaako nga batwala Kabaka mu kkooti nti talina kugaba liizi ku ttaka ly’Obwakabaka.

Eeh abange buli ttaka we liri terigabwako kyapa? Klezia erina ettaka egaba liizi n’abalala. Ye okugaba ekyapa nga kya liizi okukakasa obusenze bw’omuntu si kye kisingako. Bano tetujja kubatunuuliza kisa anti Omuganda agamba nti ennungu enkalirize ekisa,tewona.”

Bino abyogeredde mu Lutuula olusooka olw’Olukiiko  lwa Buganda olw’omulundi ogwa 24 olutudde e Bulange- Mmengo leero ku Mmande nga lubiriziddwa Nelson Kawalya.

Katikkiro okwogera bino kiddiridde Male Mabirizi ow’Ekkobe okuvaayo n’atwala Kabaka mu kkooti enkulu gye buvuddeko ng’agamba nti enkola y’okuwandiisa abantu abali ku ttaka ly’Obwakabaka, teri mu mateeka.

Katikkiro Mayiga yayongedde n’asaba ababaka ba Palamenti naddala abava mu Buganda okusimbira ekkuuli ennongoosereza mu tteeka ly’ettaka erya 1998, Gavumenti eya wakati ly’eyagala okukola n’agamba nti gavumenti okugamba nti eyagala okutwala ettaka ly’abantu erikolereko wamu n’okuliwa Bamusigansimbi nga tesoose kutegeragana nabo wadde okubasasula kikyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...