
Omubaka Kalwanga
OMUBAKA wa Busujju mu Palamenti, David Lukyamuzi Kalwanga agambye nti eby'obulamu mu ssaza ly'e Busujju biri mu mbeera mbi wabula balina enteekateeka ennungi okukyusa embeera.
"Amalwaliro ga gavumenti gali 3 kyokka amagombolola gali 5; Maanyi, Butayunja, Kakindu Malangala, wabula ag'obwananyini mwegali. Tetulina ambyulansi era nnina enteekateeka ey'okuleeta ambulyansi bbiri okutaasa embeera," Kalwanga bwe yagambye.
Yagambye gavumenti ebayambe eyongere ku bungi bw'abasawo mu malwaliro gano, wamu n'okwongera ku bikozesebwa mu malwaliro gano.
Kalwanga yakubirizza abavubuka okubeera abakozi n'obutatuula waka kwekubagiza na kuklungiriza mbeera y'obwavu.
"Omulimu omunene gukusanga ku mulimu, tekikola makulu kusigala waka. Abavubuka ab'omulembe Omutebi mulina okubeera abakozi ennyo," omubaka bwe yabakuutidde.
Yagambye nti yamaze dda okukwatagana ne minisita w'abavubuka n'amuwa ssente nga kati bagenda kukola ebibiina by'abavubuka 50 okuyisizaamu ssente zino basobole okubaako bye beekolera.
Yagasseeko nti balina enteekateeka okusooka okubangula abavubuka ku ngeri gye bagenda okukozesaamu ssente zino ezigenda okubaweebwa basobole okweggya mu nvubo y'obwavu.
Bino byonna omubaka yabyogereddemu lukuηηaana olwa Local Government PAC, olwategekeddwa ku Speak Resort e Munyonyo ku Lwokutaano n'OLwomukaaga lwa wiiki ewedde.