TOP
  • Home
  • Agawano
  • Atemyetemye jjajja we n'amubbako obukadde 2

Atemyetemye jjajja we n'amubbako obukadde 2

Added 23rd August 2016

POLIISI y’e Bukomero mu disitulikiti y’e Kiboga ekutte n’eggalira omuvubuka lwa kutemaatema jjajja we ebiso n’amutta mu bukambwe n’amubbako ssente eziwera 2,000,000/-.

 Kawungu. Ku ddyo, Lumu ng’ali ku poliisi e Bukomero

Kawungu. Ku ddyo, Lumu ng’ali ku poliisi e Bukomero

POLIISI y’e Bukomero mu disitulikiti y’e Kiboga ekutte n’eggalira omuvubuka lwa kutemaatema jjajja we ebiso n’amutta mu bukambwe n’amubbako ssente eziwera 2,000,000/-.

Edward Lumu, 22, akola ogw’obukinjaaje, abadde abeera ku kibanja ky’omugenzi ku kyalo Namaganda mu ggombolola y’e Bukomero e Kiboga.

Yawuniikirizza abatuuze ne Poliisi bwe yakkirizza nga bwe yasse jjajja we, Tarasinci Kawungu, ow’emyaka 72, ng’ayambibwako Abdul Kiiza, eyakazibwako erya Mutooro, ne bamupakira mu lugoye lw’omufaliso.

Lumu yagambye nti ekyamussizza jjajja we, ye mukazi we eyabadde asulirira okuzaala kyokka nga talina ssente za ddwaaliro kyokka ng’akimanyi ate nga bulijjo alaba omukadde ono alina ssente nnyingi kw’atoola bw’abadde aliko ky’amutuma.

Nnamwandu Nnaalongo Kawungu yategeezezza nti be baakuza Lumu oluvannyuma lwa nnyina (muwala waabwe) okufa n’amuleka nga muwere.

Ssentebe w’ekyalo, Joseph Nyombi, ye yayise Poliisi ne bakwata Lumu gwe baasanze agulira abantu omwenge mu bbaala e Kateera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...