TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ebya Gen. Sejusa tebinnaggwa: Gavt. ettukizza emisango gye

Ebya Gen. Sejusa tebinnaggwa: Gavt. ettukizza emisango gye

Added 23rd August 2016

EBYA munnamagye, Gen. David Sejusa tebinnaggwa, gavumenti esabye kkooti emisango gyonna egyali gimuvunaanibwa giddemu buto okuwulibwa mu kkooti y’amagye.

 Gen. David Sejusa

Gen. David Sejusa

EBYA munnamagye, Gen. David Sejusa tebinnaggwa, gavumenti esabye kkooti emisango gyonna egyali gimuvunaanibwa giddemu buto okuwulibwa mu kkooti y’amagye.

Gavumenti egamba nti Sejusa akyali munnamagye kubanga tebamuwangako bbaluwa emuwummuza, n’olwekyo alina okuvunaanibwa nga munnamagye mu kkooti y’amagye e Makindye.

Omulamuzi wa kkooti enkulu, Margret Oguli, yayimiriza emisango gyonna egyali givunaanibwa Sejusa mu kkooti y’amagye e Makindye omwali okunyooma bakama be, kwebulankanya ku mulimu nga tafunye lukusa saako n’okwetaba mu nku ηηaana z’ebibiina by’obufuzi.

Oluvannyuma Omulamuzi Oguli yasala omusango gwa Sejusa n’agamba nti takyali munnamagye n’olwekyo tasobola kuvunaanibwa mu kkooti y’amagye e Makindye.

Omulamuzi Oguli era yagamba nti Sejusa yakoma okubeera omujaasi olunaku lwe bamuggyako emmundu, abakuumi, ebyambalo by’amagye saako n’omusaala era emisango gy’okunyooma bakama be gyagenda okumuvunaanibwa nga takyali mujaasi.

Kati gavumenti ewakanya ensala y’omulamuzi  Oguli, eyagala kkooti eragire Sejusa azzibweyo mu kkooti y’amagye awerennembe n’emisango gye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...