TOP

Oluguudo lw'omu Nyendo lukaabya

Added 23rd August 2016

BANNAMASAKA naddala abakozesa oluguudo oluva ku nkulugo ya Total we bayita ku ‘Welcome’ okuyita mu kibuga Nyendo -Nakayiba okutuuka mu kibuga Masaka bakukkulumidde Gavumenti olw’obutabakolera luguudo lwabwe kyokka nga bamaze emyaka 10, nga balussa mu mbalirira y’eggwanga.

 Oluguudo nga bwe lufaanana.

Oluguudo nga bwe lufaanana.

BANNAMASAKA naddala abakozesa oluguudo oluva ku nkulugo ya Total we bayita ku ‘Welcome’ okuyita mu kibuga Nyendo -Nakayiba okutuuka mu kibuga Masaka bakukkulumidde Gavumenti olw’obutabakolera luguudo lwabwe kyokka nga bamaze emyaka 10, nga balussa mu mbalirira y’eggwanga.

Bagamba nti kyali kikyamu Gavumenti okwebalama okuyisa oluguudo olugenda e Mbarara wakati mu kibuga Masaka n’ekola olulala okuyita ku Kyakumpi wabbali w’ekibuga kye bagamba nti kyakosa ebyenfuna mu Masaka.

Mu kiseera kino obubenje naddala obw’emmotokka okutomera bodaboda, bweyongedde ku luguudo luno olw’abagoba ba bodaboda abatomerwa mmotokka nga bagezaako okuwugula ebinnya ebifumbekedde ku luguudo luno kw’ossa ebinnya ebyetemye ebbali w’oluguudo ng’oluguudo olwali olugazi lutandise okufunda.

Embeera eno Bannamasaka tebaginenyeza bakulembeze baabwe okuli Meeya Kayemba Afaayo ne ssentebe wa Nyendo Ssenyange Micheal Mulindwa Nakkumusana n’owa Katwe-Butego Dennis Lukanga Majwaala nti kuba luno oluguudo telubakwatako nga Gavumenti n’ekitongole ky’enguudo ekya UNRA be baruvunaanyizibwako.

Kyokka yadde biri bityo, Bannamasaka bagamba nti n’enguudo ezeegatta ku luguudo luno nazo zaawomoggoka okuli olw’e Kitovu, Villamaria, olugenda ku ddwaaliro e Masaka n’eziyingira mu ppaaka y’e Masaka.

Baasabye ababaka baabwe mu Palamenti okuli, Mathias Mpuuga, Mary Babirye Kabanda okutuusa ensonga yaabwe mu Palamenti esobole okumanyisa Gavumenti kuba tebamanyi buzibu we buva ng’ate ssente ezigenda okukola oluguudo zibeera ziragiddwa mu bajeti.

Abaamaduuka abakolera mu kitundu kino bagamba nti abaguzi bakendedde kuba oluguudo lujjudde ebinnya.

Enkuba bw’etonnya amazzi galegama mu binnya ate omusana bwe gwaka enfuufu n’ebuna buli kintu.

Meeya w’e Masaka Godfrey Kayemba Afaayo yategeezezza nti nabo tebatudde butuuzi wabula bafuba okwogera ne Gavumenti n’ekitongole ekikola enguudo ekya UNRA okulaba nga bayamba okukola oluguudo luno kuba lubakwatako butereevu.

Yagambye nti enguudo ezikolebwa ekibuga beetegefu okuzikola n’awa ekyokulabirako ky’oluguudo lwa Yellow knife olwakolebwa ekibuga Masaka nga lwa mulembe n’agamba nti bajja kwongera okuluggusa ku lugenda e Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...