TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasomesa mumasomero g'obwannanyi baakutandikawo SACCO

Abasomesa mumasomero g'obwannanyi baakutandikawo SACCO

Added 23rd August 2016

Abasomesa mumasomero g'obwannanyi baakutandikawo SACCO

Abasomesa nga balaga engeri SACCO gyejja okubayambamu

Abasomesa nga balaga engeri SACCO gyejja okubayambamu

ABASOMESA mu masomero g’obwannannyini nga bayita mu kibiina kyabwe ekya National Private Educational Institutions Association (N.P.E.I.A) batandise kaweefube ow’okulaba nga bakola ekibiina ky’obwegassi mwe banaayita okutereka wamu n’okwewola ssente kibayambe okwongera ku nkulakulana yabwe.

Ekibiina kino kya kubaamu ba mmemba bokka abasomesa mu masomero g’obwanannyini mu Uganda yonna era nga bano baakuba nga batereka ate nga beewola ssente. Bino baabituseeeko mu lukiiko lwe  baatadde ku ssomero lya Good Times e Kawaala era ne bagamba nti abakulu b’amasomero g’obwannannyiuni bewola ssente mu bbanka ekintu ekiviirako abamu okuwamba amasomero gaabwe olw’okuba n’amabanja ga bbanka.

Mu lukiiko luno abasomesa baalonze ssentebe waabwe omujja ow’eggombolola ya Lubaga wamu n’abayambi be era ng’okulonda kwabadde kwa kusuula kalulu. Benedict Ssazi ye sentebe w’abasomesa mu masomero g’obwannannyini mu ggombolo ye Rubaga eyalondeddwa ng’ono ye yazze mu bigere bya John Bosco Mujumba abadde ssenytebe wabwe.

Ssazi mu kwebaza abasomesa okumutekamu obwesige yeyamye okukolagana na buli ssomero ly’obwanannyini mu Lubaga nga mu kino wa kubayamba nga mu buli nsonga eba ebakalubiridde. Ssazi era yategezezza nti wakumalawo obukubagano obuli mu bakulu b’amasomero ab’enjawulo nga mu kino wakulaba ng’akola ekintu ekibagatta awamu ng’abasomesa ng’ayita mu bibiina eby’enjawulo wamu n’okutuuza enkiiko ez’enjawulo mu masomero kibayambe n’okumanyagana.

Ye akulira eby’okunonyereza mu kakiiko ka N.P.E.I.A Hasadu Kirabira yategezezza nti kino kye bakoze eky’okulonda abakulembeze abapya bakukikola buli wamu okulaba nga n’amasomero gwabwe gakyuka mu ndabika ne mu nkulakulana.

“Tutandikidde mu ggombolola ya Lubaga era tugenda kutambula ne mu ggombolola endala ezikola disitulikiti ya Kampala nga bwe zinaaba ziweddeyo tugenda kugenda mu buli disitulikiti ya Uganda okulaba nti buli kitundu tuberayo n’abakulembeze  be tusobola okuwakwasaganya nabo ensonga z’ebyenkulakulana wamu n’okulaba nti ekibiina kyaffe kitumbuka ku musingi ogw’amaanyi”Kirabira bwe yategezezza.

Mu kulonda kuno akulira essomero lya Good Times Kawaala Ronald Mpagi yalondeddwa okuba pomuwanika w’abasomesa mu ggombolola ya Lubaga era ng’ono yategezezza nti wakukola n’amaanyi okulaba nga offiisi ye gye bamuwadde agikozesa bulungi era n’okulaba nga SACCO gye batesezaako agikolako mu bwangu abasomesa bayite omwo basobole okwekulakulanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...