TOP

Ggeeti ekubye abalongo babiri ne bafa!

Added 30th August 2016

Ggeeti ekubye abalongo babiri ne bafa!

 Kato (ku kkono emabega) eyafudde. Wano yali ne balongo banne abaasimattuse olujji lwa ggeeti.

Kato (ku kkono emabega) eyafudde. Wano yali ne balongo banne abaasimattuse olujji lwa ggeeti.

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Naluvule mu ggombolola ya Mumyuka Wakiso olujji lwa ggeeti bwe lugwiridde abaana abalongo omu n’afa.

Ekikangabwa kino kyabaddewo ku Ssande ku ssaawa nga 12:30 ez’akawungeezi, oluggi lw’oku muliraano we bookera ebyuma bwe lwetegudde ne lukuba abalongo abaabadde balya ffene.

Abaana bano ba Nnaalongo Susan Wamala era Isaiah Kato, 11, yafudde atwalibwa ku Ssebbi Medical Centre e Nansana. Kato abadde asoma P6 mu Nansana Central Academy.

Nnaalongo, eyabadde yaakava ku kkanisa ya Winners Chapel ku Lubaga Road, olwatuuse awaka n’awulira ekigwa kyokka yagenze okutuukawo ng’abaana be bataawa nga ne Kato attulukuka omusaayi ku mutwe ne mu nnyindo.

Omwana baamusoosezza mu Naluvule Medical Centre wabula mu kumwongerayo n’afa. Oluvannyuma omulambo gwateekeddwa mu ambyulensi ya Ssebbi Medical Centre ne gutwalibwa e Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.