TOP

Engeri omukazi gye yaluse olukwe ne yettira bba

Added 9th September 2016

Engeri omukazi gye yaluse olukwe ne yettira bba

 Musaasizi ne Nabbengo ku lunaku lwe baamwanjula mu bazadde be.

Musaasizi ne Nabbengo ku lunaku lwe baamwanjula mu bazadde be.

OMUKOZI w’awaka eyabaddewo ng’omukazi afumita bba ekiso mu kifuba n’afa oluvannyuma ayogedde engeri omukazi gye yaluse olukwe okutta bba n’okubuza obujulizi.

“Bwe yategedde nti mmulabye n’ankyukira nange anzite abazze okutudduukirira banzigye mu kaabuyonjo gye neggalidde okutaasa obulamu bwange” Annet Lyashaba 14 omukozi wa Joan Najjuma bw’annyonnyola.

Ku nkomerero y’omwezi oguwedde, Joan Najjuma agambibwa okubeera nga yafumise bba Hannington Musaasizi ekiso mu kifuba mu maka gaabwe e Kawempe - Lugoba n’afiira mu ddwaaliro oluvannyuma.

Kyabadde kigambibwa nti, Najjuma yakutte bba n’omukozi w’awaka Lyashaba nga kye kyamutabudde okutuusa obulabe ku bba.

Yasoose kubulawo, poliisi y’e Kawempe bwe yakutte omukozi n’agitegeeza nti waliwo abasajja basatu abaayingidde ekikomera ne bafumita Musaasizi ekiso. Ekirala Joan Najjuma ge mannya ge yawa ku poliisi naye ebiwandiiko bye biraga nti ye Diana Nabbengo Luutu omubazi w’ebitabo e Wakiso amannya ga Joan Najjuma yageepaatiiseeko.

 LYASHABA ANNYONNYOLA ENGERI OLUKWE GYE LWALUKIBWA:

Ku Lwokusatu ku makya Nabbengo eyeeyise ‘Najjuma’ yakeera ne yeetegeka okugenda ku mulimu kyokka bba nga tanyega so nga bulijjo y’amuvuga.

Yabadde afuluma yasinzidde ku mulyango n’alagiriza bba ebigambo nti “leero Shalom tomunona ku ssomero nze hhenda okumwenonerayo ku ssaawa 7:00. Essaawa nga ziwera 7:00 mukama wange yakomawo n’omwana n’antuma ku dduuka okugulira omwana kkeeki eran’andagira omwana Shalom amperekereko.

Twagenze okukomawo twamusanze wabweru wa nnyumba ng’ayagala kufuluma ggeeti akutte kkufulu mu ngalo. Nabadde nnyingira ennyumba ne nneekanga omusaayi ogukulukuse mu lukuubo nga guva mu kisenge, ne ntya era nayitira mu ggalagi okuyingira ennyumba bwe nagezaako okuggula enzigi z'ebisenge nga nsibe. Nafuluma nkozesa omulyango ogugenda mu kiyungu ky’omu nnyumba nneetegereze ne nsanga ‘uncle’ Musaasizi nga yeesigamiziddwe ku kisenge bamusibye ekigoye mu kifuba aliraanye akambe akajjudde omusaayi.

Nalekaana ne nkuba enduulu ne nziruka okufuluma nga ggeeti nsibe. Waayise akaseera katono Najjuma n’akomawo olwaggulawo ne nzirukira gy’ali yambuukira kukunkuba ng’ambuuza kye nkoze bba newankubadde nga yali tannaba kuyingira mu nnyumba.

Yansuula wansi n’antuulako n’ankuba nga bw’ambuuza gye mbadde ndaga. Bwe namwesimattulako ne nziruka ne nneggalira mu kaabuyonjo, yagezaako okukuba oluggi ne lumulema okuggulawo.

Bwe byagaana n’akkakkanya ku ddoboozi kyokka ng’ayogeza buyinza ng’andabula nti byonna bye ndabye sibeerako kye njogera singa mbyasa agenda kunzita. Yaleeta omwan Shalom ku mulyango gwa kaabuyonjo n’atulabula nti abantu abali ebweru bwe bayingira tubagambe nti waliwo abasajja babiri abayingidde ne bafumita Musaasizi ekiso.

Abantu bwe baayingira n’abategeeza nti abadde annoonya, “mbadde nnoonya mukozi wange agudde eddalu n’afumita omwami wange ekiso n’adduka”, bwatyo bwe yategeezezza abadduukirize. Abantu be banzigya mu kaabuyonjo gye nali nneesibidde, Musaasizi ne bamutwala mu ddwaliro.” Lyashaba yategeezezza nti abadde yakakola ewa Najjuma emyezi mukaaga ng’ ansasuddeko emyezi ebiri.

NABBENGO AYANJULA MUSAASIZI

Nabbengo yayanjula Musaasizi mu 2014, kyokka babadde baakamala emyaka 10 nga bali bombi. Abooluganda lwa Musaasizi nga bakulemberwa kojjaawe Jackson Tinkamanya, ne nnyina omuto Justine Kalemba ne nnyina w’omukozi Lyadia Kedin baasisinkanye ne Nabbengo gy’ali mu kaduukulu ne boogera naye.

Babadde ne ssentebe w’e Kawempe - Lugoba Ssalongo Juma Sserwadda ebintu ne bigabanyizibwa. Eby’omukozi baabiwadde nnyina engoye za Nabbengo ne baziwa nnyina, abooluganda lw’omugenzi ne batwala ebirala kyokka ebimu baabitundiddewo. Sserwadda yategeezezza nti abantu bano ennyumba yaabwe babadde bagipangisa 800,000/- buli mwezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....