TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bba wa Minisita Seninde bamulongoosezza omutima n'atendereza omutindo gw'abasawo b'e Mulago

Bba wa Minisita Seninde bamulongoosezza omutima n'atendereza omutindo gw'abasawo b'e Mulago

Added 16th September 2016

“Omutindo abasawo ba wano gwe baliko mulungi, kye bakola bakimanyi, kikwasa ennaku okulaba nga ssente ze bafuna ntono” bwatyo Seninde eyabadde mu bulumi nga bamutaddeko ebyuma bwe yategeezezza.

 Seninde ng'afuna obujjanjabi mu waadi y'abalwadde b'emitima. EBIFAANANYI BYA JOSEPH MUTEBI

Seninde ng'afuna obujjanjabi mu waadi y'abalwadde b'emitima. EBIFAANANYI BYA JOSEPH MUTEBI

BBA wa Minisita Rosemary Nansubuga Seninde, Kizza Seninde olumuggye mu Amerika n’atwalibwa butereevu mu ddwaaliro e Mulago ne bamulongoosa omusuwa ogwabadde gutatambuza musaayi okugutuusa ku mutima.

Seninde yasooka kufuna buzibu mukussa nga August 3, 2016 ng’ali mu Amerika mu ssaza ly’e Chicago ne bamutwala mu ddwaaliro ly’abagagga erya Edward Hospital gye baamujjanjabira ne bamukuba bbiiru ya ddoola 48,000, (160,800,000/-).

 

Ssente zaali nnyingi nga n’okutuusa kati akyazisasula mu bitundu nga bwe bakkaanya n’eddwaaliro.

Nga September 3, 2016, Seninde yaddamu n’alemererwa okussa obulungi nga bw’atambula akoowa mangu nga yali mu lukuhhaana lwa UNAA mu Amerika olutuula buli mwaka.

Yasazeewo okugenda e Dubai mu ddwaaliro lya Gavumenti erya Dubai Health Authority gye baamukebeerera ne bakizuula nti alina omusuwa ku mutima ogutatambuza musaayi bulungi ne bamusaba ddoola 10,000 (33,500,000/-) n’alaba nga ssente nnyingi kwe kusalawo okudda wano nga yagenze butereevu mu ddwaaliro e Mulago mu waadi omujjanjabirwa ab’omutima nga yatuuseeyo ku Mmande ya wiiki eno.

 

Ku Lwokusatu baamukebedde ne bazuula ekintu kye kimu ne bamulongoosa.

“Omutindo abasawo ba wano gwe baliko mulungi, kye bakola bakimanyi, kikwasa ennaku okulaba nga ssente ze bafuna ntono” bwatyo Seninde eyabadde mu bulumi nga bamutaddeko ebyuma bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...