TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Nadduli bibi; ssente zeyafuna mulukujjukujju zibimuzaalidde!

Ebya Nadduli bibi; ssente zeyafuna mulukujjukujju zibimuzaalidde!

Added 17th September 2016

Ebya Nadduli bibi; ssente zeyafuna mulukujjukujju zibimuzaalidde!

 Nadduli

Nadduli

MINISITA wa guno na guli Hajji Abdul Nadduli bamututte mu kkooti nga bamuvunaana okutunda ettaka ery’empewo n’afuna obukadde 341 mu lukujjukujju.

Kkooti ewadde Nadduli ennaku 15 aweeyo okwewozaako ku misango gy’okutunda ettaka ery’empewo.

Kkampuni ya Great Lakes Agriculture Development LTD y’eyatutte Nadduli mu kkooti y’ebyobusuubuzi mu Kampala lwa kugiguza ettaka erisangibwa e Bulemeezi ng’abakakasizza nti lirye kyokka bagenda okunoonyereza ng’ekyapa kiri mu manya ga Roy Mayinja. Ettaka lino liwezaako square mayiro ssatu nga Nadduli yaliguza kkampuni eno eyakiikirirwa Michael Lukwago nga December 15, 2009 .

Ettaka lino litudde ku Bulemeezi Block 320 plot 1, e Busoowa nga okusinziira ku ndagaano gye baakola Nadduli yakkiriza aba Great Lakes okusalako square mayiro ssatu ze baagula.

Nadduli mu kutunda ettaka yakakasa nti ekyapa kiri mu mannya ge era teririiko nkaayana zonna wabula mu February 2010 ebigambo ne bitandika okuyitihhana nti ettaka si lya Nadduli kyokka ye n’akalambira nti ettaka lirye era n’abasuubiza n’okubawa ebiwandiiko ebikakasa obwannanyini bye yali akyakolako mu kiseera ekyo.

Nga December 30, 2013 aba Great Lakes baafuna ebbaluwa okuva mu ba looya ba Kavuma Kabenge ebategeeza nti ettaka lye baagula lya Roy Mayinja wabula Nadduli n’ayongera okukalambira era nabategeeza nti lirye n’omugenzi Abdallah Sempa Omubinge nga ne kkooti yamuwa obuyinza ku bintu by’omugenzi.

Nadduli yakakasa nga bw’agenda okusazisaamu ekyapa kya Mayinja gw’alumiriza okufuna ettaka lye mu bukyamu wabula nga kati myaka essatu Nadduli akyalemeddwa okusazisaamu ekyapa kyokka nga ssente zaamuweebwa era n’azirya Okusinziira ku bujulizi aba Great Lakes kwe basinziira okwesigamako mu kkooti y’ebbaluwa eva mu minisitule y’ebyettaka, ekakasa nti Nadduli tabangako nnannyini ttaka lino ne mu biwandiiko bye balina ku bwannanyini bwe ttaka lino Nadduli tabeerangako.

Ebiwandiiko bya kkooti era biraga nti bagezezzaako okubanja Nadduli abaddize ssente ze baamuwa kyokka buli kaseera abakakasa nga bw’akyakola ku kyapa ate ng’amazima agamanyi nti ettaka ssi lirye kwe kusalawo okumutwala mu kkooti. Omulamuzi Anna Basaza Bitature amulagire okuzzaaayo ssente ze baamuwa n’okugattamu ez’okubalumya n’okufiirizibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...