TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balandiroodi ne Mmengo bawagidde amateeka g'ettaka amapya

Balandiroodi ne Mmengo bawagidde amateeka g'ettaka amapya

Added 17th September 2016

Balandiroodi ne Mmengo bawagidde amateeka g’ettaka amapya

 Okukolera emirimu ku ttaka olina kusooka kutegeezaako kakiiko ka disitulikiti akavunaanyizibwa ku ttaka.

Okukolera emirimu ku ttaka olina kusooka kutegeezaako kakiiko ka disitulikiti akavunaanyizibwa ku ttaka.

GAVUMENTI eyisizza amateeka amapya agagenderera okumalawo ekibbattaka n’okutwala ebibira n’entobazzi. Mu mboozi eyookubiri ku mateeka gano Ahmed Mukiibi ne Dickson Kulumba balaze engeri balandiroodi gye bagoogerako.

MU nkyukayuuka mu by'ettaka ezaatandise okukola ku Lwokuna lwa wiiki eno, Gavumenti tejja kuddamu kuganya kkampuni z'abatunda ettaka abalina omuze gw'okugula agatundutundu g'ettaka mu byalo ne basenda emmere y'abatuuze ne batemamu bupoloti.

Mu mateeka amapya, tewali muntu alina buyinza kukyusa nkozesa ya ttaka nga tasoose kufuna lukusa kuva mu kakiiko akateekerateekera disitulikiti Omwogezi wa Minisitule y'ebyettaka Dennis Obbo yagambye nti ettaka ly'omu byalo erisinga libeera lyakulimirirako so si kuzimbako mayumba. Kino Obbo yagambye nti kye kimu ku bitagenda kuddamu kubaawo okuva enkyukakyuka empya mu by'ettaka lwe zaatandise okukola.

Obukiiko obuteekerateekera disitulikiti Obbo yagambye nti buno bwe bulina obuyinza okukyusa enkozesa y'ettaka, okugeza; okuva ku kubeera ettaka ery'okulimirako okudda ku kubeera ttaka ly’okuzimbako amayumba era okuggyako ng'ekyo kikoleddwa, abatunda ettaka tebagenda kuddamu kutaataaganya bantu nga bwe babadde bakola.

Amateeka amapya gaakumalawo obuyumba obw’omugotteko nga buno mu bibuga.

Enkyukakyuka zino Gavumenti ezireese kuyamba bannansi okufuna enkulaakulana mu bitundu byabwe so si kunyigirizibwa. Obbo yagambye ekigendererwa kya gavumenti ekikulu kwe kussa mu nkola etteeka ery'okuteekerateekera erya Physical Planning Act 2010 okulaba nti Bannayuganda babeera mu bitundu byabwe nga biteekeddwateekeddwa bulungi. " Okuva kati, omuntu bw'agula ettaka ly'ekyapa, ateekwa okulaga ekkubo erimutuusa ku poloti ye ng'erina ebipimo nga bwe birambikiddwa mu tteeka" Obbo bwe yagambye. Gavumenti tegenda kuddamu kugaba byapa ebya bupoloti obusikirikitu.

obuzibu kussa mu nkola tteeka Godfrey Lule, eyaliko Minisita w'ebyamateeka mu gavumenti ya wakati n'ey'e Mmengo agamba: Bwe kibeera ng’enkyukakyuka zikoleddwa ku lw'obulungi bw'okuteekerateekera eggwanga, ekyo kirungi wabula nze nnina okutya nti Gavumenti eyinza okuba nga terina busobozi kukissa mu nkola kubanga amateeka ag'okuteekerateekera eggwanga gabaddewo ebbanga ddene naye gakoma mu bitabo.

Ssinga amateeka ag'okuteekerateekera eggwanga gaali gagobererwa, Kampala yandibadde tafaanana nga bw'afaanana kati, teyandibaddemu bifo nga Katanga, Kivvulu n'ebifo ebirala ebirimu obuyumba obw'omugotteko abantu baffe gye basula obubi ennyo.

Sikakasa nti Gavumenti erina obumalirivu n'obusobozi okussa mu nkola enkyukakyuka z’ereese kubanga waliwo n'amateeka amalala bangi agazze gabagibwa ne gayisibwa kyokka ne gatassibwa mu nkola.

Okugeza waliwo etteeka erigaana okuleekaanira mu kibuga n'ebifo ebirala kyokka osanga omuziki nga gusindogoma okumpi n'eddwaaliro ne weebuuza oba ddala amateeka agayisibwa gakola! Nnina okutya nti bino bigenda kwongera kunyigiriza muntu waabulijjo kubanga mu kiseera kino abantu abamu bamala n'omwaka mulamba nga bagoba ebyapa nga tebifuluma.

Kati enkyukakyuka zino zigenda kwongera ku kiseera ekyapa kye kimala nga tekinnafuluma, olwo omuntu waabulijjo atalina ssente zaakugulirira ayongera okubonaabona. Joseph Ssemambo, omukugu eyeebuuzibwako mu by'okuteekateeka ettaka n'ebibuga; Ku lwange Gavumenti ekoze kirungi okuleeta enkola eno era yalwawo dda, kyandibadde kyakolebwa emyaka 30 emabega. Ensonga lwaki ebibuga byaffe bifaanana nga bwe biri eri nti poloti zimala gatemwatemwa awatali kwetegereza biki ddala ebiri mu kitundu ekyo, okugeza eyinza okubeera nga terina kkubo, awayita amazzi n'ebirala kyokka n’egenda mu maaso n'ezimbibwamu.

Ekizibu ekirala ekibaddewo nti enkola ennuhhamu yaviibwako ne tutandika na kuzimba, n’odda mu kukola pulaani n'oleeta abapunta okwetegereza ettaka w’ozimbye kyokka ng'enkola entuufu abakola pulaani be balina okusooka okuteekateeka enkozesa y'ettaka bw’erina okubeera ne bakugamba nti olwo luguudo wadde nga terunnateekebwawo kyokka nga kyateekebwateekebwa dda. Abapunta ne baddako okulabira ddala ku ttaka ebyo ebiteekeddwateekeddwa we binaayita, abakubi ba pulaani n'ebizimbe bwe birifaanana olwo bayinginiya ne basembayo okuteeka mu nkola ebyo ebitegekeddwa abakubi ba pulaani.

 Okutwala enkola mu maaso awatali buzibu, abavunanyizibwa ku nteekateeka eno basaanye okukuba pulaani z'ebitundu byonna zibeerewo nti enkulaakulana yonna w’ejjira nga bifunika wabula si kulinda nti gundi ayagala kukolera mu kifo bwe kiti ate olwo pulaani ne ziryoka zijjukirwa. Nsaba abantu batwale entegeka eno n'omwoyo omulungi nti egenderera kulungiya bitundu byaffe n'okumalawo emivuyo egy'enjawulo, balemekugiteekamu nguzi okusobola okusigala nga bazimba awantu wadde tewakkirizibwa era bakkirize n'okuwabulwa.

Bwe bakugamba nti poloti eno tojja kusobola kugisala ku kyapa kuba walina okuyitawo oluguudo, amazzi, ebintu ebiyamba ekitundu, kkiriza odde awalala. mmengo egaanirizza DENIS BUGAYA, Omwogezi wa Buganda Land Board: Buganda Land Board (BLB) ebadde egoberera emitendera nga bwe girambikiddwa mu tteeka lya Physical Planning Act. "Enkyukakyuka za Gavumenti tuziraba ng'okwongera okunyweza amateeka agagobererwa mu kufuna ebyapa. Mu ntambuza y'emirimu e Kampala ne Wakiso tubadde tubigoberera", bwe yagambye. Enkola yaakwongera kuleeta nkulaakulana kubanga kiyamba obutataataaganya nteekateeka eyalambikibwa mu bitundu.

Mu mbeera eno Gavumenti esaanye okulaba ng'emitendera gyonna egireeteddwa mu nkola eno, nga gyanguwa giveemu okunyigiriza abantu kuba kiyinza okuvaamu ebizibu bingi okuli okwongera enguzi. Okusobola okutereeza kino abakozi n'ebyuma birina okubeerawo mu bungi okusobozesa enkola eno okwanguwa.

Henry Ssebaggala, avunaanyizibwa ku by'okuteekateeka ebibuga mu Buganda Land Board (BLB): Emitendera egiyitibwamu okufuna ebyapa wano mu Kampala tumaze ebbanga nga tugigoberera nga tweyambisa ekitongole kya KCCA. Mu mbeera ey'ekikugu okwongeramu kw'okusooka okutuukirira akakiiko k'ebyettaka mu Disitulikiti kigenda kwongera ku bungi bw'ebisale ebyetaagisa mu enkola eno. Ensimbi zino ezigenda okusabibwanga akakiiko ate n'akola ku nsonga z'ettaka alina kuziteeka ku kasitoma we.

Ekirala ebiseera bigenda kwongera okutwalibwa mu bungi kubanga bwe weetegereza ensonga eno Disitulikiti ezimu tezinnateekawo bukiiko bukola ku nsonga eno. Luli emitendera egibadde giyitibwamu nga gitwala emyezi ng'ena ate gino egyongeddwaamu kitegeeza mu bitundu ebimu omuntu atuuse okufuna ekyapa nga kiwedde mu myezi nga munaana.

Wasajja Huzair, owa kampuni ya WAHU Property agencies and Land Surveyors Consultants Enkyukakyukaza Gavumenti z'ereese zirina ebirungi wabula n'ebizibu zirina bingi. Zigenda kuyambako okulwanyisa omuze gw'okubba ettaka kubanga emitendera egiyitibwamu okufuna ekyapa gimyumyuddwa. Ekirungi ekirala nti wagenda kubaawo okutegekera ebitundu obulungi kye nsuubira nti kigenda muleetawo enkulaakulana ssinga kinaaba kissiddwa mu nkola.

Wabula obuzibu obuli mu nkukakyuka zino, okutunda n'okugula ettaka kugenda kukaluubirira enjuyi zonna, kubanga omuntu tajja kutunda oba kugula ttaka okuggyako ng'afunye ebbaluwa y'akakiiko akateekerateekera disitulikiti oba ekibuga.

Enkyukakyuka zaakuyingira mu nsawo y'agula n'atunda ettaka kubanga abaakakiiko balina okusooka okutwalibwa mu kitundu awali ettaka era kino kirina okusasulirwa agula n'atunda . Waliwo n'okutya nti enguzi mu by'okutunda n'okugula ettaka egenda kweyongera kubanga abaakakiiko abamu bayinza okusaba enguzo okusobola okuwa ebbaluwa.

Israel Mayengo, yaliko Minisita e Mmengo; Enkola eno erabika nnungi kyokka simanyi lwaki epapiddwa okuleetebwa awatali na kusooka kuteesebwako n'egenda mu nkola nga yekkaanyiziddwa bulungi!

Wabaddewo obuzibu nti abantu babadde bakeera bukeezi n’asalawo okuzimba mu kifo era n’azimba, nneewewuunya entegeka y'abakugu baffe, bakolera ddala mulimu ki mu bifo ebyo? Kino olumu kibadde kirabika ku bifo by’olabira ddala nti bya nkizo n'okugasa abantu bonna naddala ebifo byaffe ebyobuwangwa - bye nsaba mu nkola eno empya bikuumibwe. Tusaba wabeerewo obutangaavu nga kikolebwa abantu baleme kunyigirizibwa n'okutaataaganya ebyo bye beetaaga okukolera ku ttaka.

Nsaba kino nga kikolebwa waleme kubeerawo bweralikirivu nti bannaffe balina ekigendererwa ky'okulaba nga bamalawo ettaka lyonna eriri ku mayiro 9000- olumu lye bayita erya bonna. Hajji Ssemakula owa Ssema Properties agamba: Amateeka amapya gongedde misoso egigenda okukaluubiriza buli ali mu buguzi bw’ettaka.

Abaweereddwa obuyinza bw’okulondoola ensonga eno ku Disitulikiti balina okukozesa obwangu okutuukana n’obwetaavu obuliwo oluusi ky’osanga nga kibulamu mu bitongole byaffe. Enkola eno bw’eneeba yaakutambula bulungi nsaba esooke egezesebwe mu bifo by’ebibuga ebinene kubanga yo waliyo omulimu gw’okuteekateeka ogukoleddwaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Omusajja alinnye omuti gw'a...

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye...

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo adduse mu ggw...

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta. Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu...

Bannaddiini mu kuziika omugenzi Kibuuka Musoke.

Amagye ga Gavumenti ya Ethi...

ADDIS ABABA, Ethiopia ABANTU 750 ababadde beekwese mu Klezia bazingiddwaako amagye ne battibwa kirindi. Abamu...

Amaka Maj. Zizinga  (mu katono ku kkono) w’abadde abeera.

Ekiraamo kya Zizinga kiwuun...

EKIRAAMO kya Maj. Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga 85, kyasomeddwa mu Lutikko e Namirembe, abakungubazi ne bawuniikirira....

Hajji Jamir Ssebalu.

'Abakozi mufeeyo ku mirimu ...

Omukugu mu by'obusuubuzi n'okusomesa abantu ku ntambuza y'emirimu n'enkwata ya ssente, Hajji Jamir Ssebalu akubirizza...