TOP

Abaana bange bannyambye okuziyiza omugejjo

Added 17th September 2016

Abaana bange bannyambye okuziyiza omugejjo

 Irene ng’ali n’abaana be ku bbiici.

Irene ng’ali n’abaana be ku bbiici.

IRENE Kruger Nabbosa mukyala mufumbo era alina n’abaana. Abeera Bugirimaani ne wano era abantu b’e Munyonyo gy’alina amaka baamukazaako ‘Mukyala Mujamani.’ Muyimbi, muzannyi wa firimu ate musuubuzi. Akola emirimu egiwerako kyokka n’asigala ng’alabika bulungi.

Yabuulidde RONNIE MARK KIYINGI engeri gye yeerabirira.

Oli otya Irene!Obulamu obusanga otya?

Ndi mukyala mukozi nnyo era ntambula ensi eziwera kubanga omwami wange abeera mu Bugirimaani kyokka ne wano mu ggwanga tulinawo amaka ne bizinensi ez’enjawulo.

Bizinensi oziddukanya otya ate ng’oli bweru wa ggwanga?

Nnina owooluganda lwange era gwe nafuula maneja wa bizinensi zange naddala ku dduuka eddene eriri e Munyonyo.

Ono annyanguyira kubanga mmumanyidde ebbanga ddene okuva nga muto era twogera naye ku ssimu kumpi buli lunaku. Wabula nnina n’omuntu omulala gwe nkozesa okulondoola ebigenda mu maaso ku mulimu nsobole okukakasa bye tuba twogedde ne maneja ku ssimu.

Wano Irene ng’ali n’abaana be ne mikwano gye.

Wano omalawo bbanga ki nga tonnaddayo Bulaaya?

Kisinziira, bbizinensi bwe ziba ziyimiridde. Okugeza, nakomawo omwezi oguwedde naye nga nnina kumalawo omwezi gumu nzireyo naye kati nnina okulwawoko kubanga konteyina erimu emmaali yange ekyalemedde e Mombasa.

Nnina okulindako okutuusa ng’etuuse wano. Buli mwaka nzija mu Uganda emirundi esatu.

Omwami wo omulekera ani bw’oba toliiyo?

Omwami naye akola. Obuvunaanyizibwa obusinga baba baana baffe ate bwe mba nzija mbaleeta kubanga baba mu luwummula, kati omwami asigala nga talina kimutawaanya.

Ate tulina omuvubuka awaka atuyambako ku bintu eby’enjawulo era gwe mmulekera amuyambeko. Ssente za tiketi tezikumenya? Nedda, kubanga mba nzize kukola n’okulaba ku bantu bange ate ekirala omwami wange naye annyambako mu byensimbi kubanga tali bubi.

Abakyala abasinga batawaanyizibwa omugejjo, ggwe okikola otya okukuuma sayizi?

Haha.. (aseka.) omugejjo gujja n’ebirwadde bingi noolwekyo ngulwanyisa. Bwe mba nnaakazuukuka ku makya nnywa eggiraasi y’amazzi agabuguma. Nze sinywa mazzi ga firiigi oba agannyogoga kubanga ge galeeta omugejjo.

Mu mmotoka yange mulimu fulasika ekuuma amazzi agookya era ntambula nayo buli gye ndaga. Bwe ngula eccupa y’amazzi okuva ku dduuka nga ntabulamu agookya olwo nga nnywa.

Ky’ogamba togenda mu jiimu wadde okudduka?

Nedda. Mu kifo ky’okugenda mu jjiimu oba okuddukira ku kkubo, nzannya n’abaana bange. Oluusi tuzannyira waka nga tubuuka ssonko, okwepena, okwegoba, n’ebirala. Ate ku nnaku endala tugenda e Busaabala ku bbiici ne tuzannyira mu mazzi, nga tunyumirwa ate nga bwe nkozesa omubiri nzenna ne ntuuyana nga nninga ali mu jiimu.

Abakyala abamu bagamba nti tebafuna budde bwa saluuni wadde obw’abaana; ggwe obuggya wa? Kiba kizibu okuwaayo olunaku olulamba nga lwa kugenda mu saluuni oba nti lwa kubeera na baana ku bbiici.

Wabula nfi ssa essaawa nga ssatu ne nzannya n’abaana ate olweggulo ne ηηenda mu saluuni. Mpozzi ekirala, enviiri nsiba wiivu ate tezitwala budde bungi mu saluuni.

Olina kya njawulo ki ku bakazi abalala?

Njagala nnyo okugezesa ebintu ebipya kubanga ndi muntu anyumirwa okuvumbula. Ebintu ebisinga bye nkola wano mu ggwanga ate mbikoppa mu mawanga malala naddala e Bugirimaani gye mbeera.

Njagala okukola ate siwanika bwe mba nnina kye ngoba. Kiki ky’okola okweggyako okweraliikirira wamu n’ebikunyiiza?

Ng’omukyala omukozi yenna bw’abeera oluusi nkomawo nga nkooye oba nga nneeraliikirira . Wabula nfuna oluyimba lwe mmanyi nti abaana bange balumanyi olwo ne ntandika okuluyimbira waggulu ennyo.

Okuyimba kunzikakkanya ebinnyiiza ne mbyerabira kubanga okunyiiga kukaddiya.

Abaana bo obakuza otya nga tebayaayuse?

Bonna mbakuumira kumpi ne we mbeera. Ekyo kinnyamba okubalondoola obulungi baleme kuyiga bibi nga simanyi kubanga abaana abatabeera na bazadde baabwe batera okwonooneka. Ekirala, fi rimu ze nzannya mbateekamu era bw’oziraba mwebali ate n’amaduuka gange bakolamu ne bayiga okutunda ebintu n’okwogera ne bakasitoma. Ekyo nakyo kibayigiriza empisa n’okubeera abakozi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...