TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baabano abakyala abapya 5 abayunguumya Kampala n'ebizimbe

Baabano abakyala abapya 5 abayunguumya Kampala n'ebizimbe

Added 18th September 2016

Baabano abakyala abapya 5 abayunguumya Kampala n'ebizimbe

WADDE nga ssente zibuze; bizinensi nnyingi zikonzibye n’abagagga abatutumufu baweddemu, waliwo abakazi abaleese amaanyi mu Kampala - bonna bizinensi zaabwe zitinta. Kiyinzika okuba nga si be basinga obugagga kyokka bakulaakulana buli olukya wadde nga tebannatuuka ku baasooka nga Nabukeera, Babirye n’abalala.

Leero tukuleetedde abamu ku bakazi bano. FARIDAH NABIRONGO: EKIZIMBE ekipya mu maaso g’ekkanisa ya Watoto (KPC) ku Buganda Road, kye kimu ku bisinga okuzimbibwa ku sipiidi. Kya Muky.

Faridah Nabirongo nnannyini supamaketi ya SENANA mu Kikuubo, emu ku zisinga okwettanirwa Bannakampala olw’emiwendo gyayo egitera okuba wansi egisika n’aba supamaketi entonotono okusuubulayo.

Emirimu gye omuli amaduuka n’ebizimbe abikolera mu kkampuni ye eya SENANA Investments Ltd era amakanda yagassa ku kizimbe kya Nabugabo Business Centre ekya Epumark Kagoro. Ebintu by’atunda y’abyesuubulira ng’ebisinga abinona China ne Dubai.

Wadde yalabikidde ku lukalala lwa kkampuni ezisaba Gavumenti ezinunule olw’amabanja, kigambibwa nti abagezigezi baamutegeeza nti waliwo omukisa okufuna ku ssente mu gavumenti. Y’omu ku bawala abato abeewaayo okusuubula e Kisumu n’e Nairobi mu Kenya okuva ku mulembe gwa Amin nga basalinkiriza okuyita ku loodibulooka okuyingiza emmaali. Mu njogera ennyangu yalozaako ku busuubuzi bw’amagendo.

Ekisinze okumusitula mu bizinensi y’enkola ye ey’Abayindi. Anoonya amagoba matono ku bintu. Mu kifo ky’okunoonya ennusu-ku-nnusu, ye aleeta ebintu bingi n’abiryako amagoba matono kyokka n’amazaawo mangu. Amaka ge gali Bugonga-Ntebe

 JANE FAITH NAMAGANDA:

Omusuubuzi Jane Faith Namaganda yagguddewo ekisulo ky’abayizi ba Yunivasite y’e Makerere ekya JJ Hostel ekisangibwa mu Kikoni ku mukolo Abasumba b’Abalokole kwe baamusabidde wamu n’ekifo kino. Namaganda, eyakazibwako erya Munnamasaka, era ye nnanyini dduuka lya Masaka Traders eritunda engoye z’abasajja ku Capital Arcade ku luguudo lwa Nabugabo.

Ku mukolo kwe bagguliddeko ekizimbe kino, yagambye nti ekyama kiri mu kwesiga Katonda. Yagamba nti yalokoka mu 1996 ng’okutuuka w’ali ayambiddwako abagagga bangi bulijjo be yeebuuzaako.

Namaganda, enzaalwa y’e Kalungu, atunda ettaka, okuzimba amayumba n’agatunda, asuubula engoye empya okuva e China era mulimi alina ffaamu e Kakiri. Alina amayumba agawera mukaaga e Nansana ne mu bitundu by’e Wakiso eby’enjawulo.

GLADYS NABAYEGO:

ONO akoze ssente mu mirimu egyenjawulo. Ye nnannyini kizimbe kya MUKAMA Plaza ewa Kisekka. Alina amaduuka g’engatto ku Nabugabo. Asuubula ebirime kyokka ali ne mu bizinensi y’engatto.

Obusuubuzi abuluddemu era agamba nti tabwevuma wadde ennaku zino embeera ebanyize. Twayogedde naye ku ssimu n’agamba: Abasuubuzi baffe abato mbasaba baagale nnyo omulimu gw’obusuubuzi ate bwe baba baagala okufuna, bakwate mpola n’okusasula emisolo kyokka giri waggulu ate gisusse obungi.

Okuvuganya kuli waggulu ate gavumenti tesomesezza bantu kimala ku misolo. Emyaka gy’emabega ng’abasuubuzi mu wiiki emu tuyingiza konteyina ezisoba mu 40. Embeera ku ludda lw’emisolo yali yaddeyadde.

Ekiseera kino okuyingiza wadde konteyina emu emisolo gy’osasula okuggyayo konteyina, olaba nga kumpi tosigazza wadde amagoba. Ekizibu emisolo ne bwe gitaba waggulu nnyo naye tegimanyiddwa. Oyinza okuleeta essefuliya emu n’omulala n’aleeta ekika ky’essepiki y’emu yennyini naye omusolo gwe muwa tegusobola kufaanagana. Ssente mu busuubuzi mweziri naye ensasula y’emisolo gye twagala Gavumenti etereeze.

Bwe kiba kisobola ekubise ebipande ebinnyonnyola emisolo ebitimbe nga buli musuubuzi agenda okuleeta ebintu amanya omuwendo omutuufu gw’agenda okusasula naye ekiseera kino bizibu.

Abasuubuzi mbakubiriza obutaterebuka. Obusuubuzi bulimu ssente naye ate oteekwa okubugattako ebirala. Nze nsuubula engatto, kasooli n’ebirime ne mbitunda wano n’ebweru ng’e Kenya. Ate nange nnima kasooli. Okulima Gavumenti ebadde ekyatuyambe nga tennaba kukuyingiramu nnyo kunoonya misolo. Obusuubuzi okunyuma ng’olina by’otwala ebweru ate bw’oba okomawo n’oleeta emmaali.

 ESTHER ANNE AMPUMUZA:

Ye nnannyini wooteeri ya Serene Suits e Mutundwe ennaku zino Salim Saleh gye yasimba amakanda. Dayirekita wa kkampuni ya Dynapharm etunda eddagala eryongera amaanyi mu mubiri (supplements) mu mawanga 38 okuli ne Uganda.

Yatandikira Philippines. Bba Deo Wangi yattibwa omwetissi w’emigugu mu Kikuubo. Kyokka kino tekyamuzza mabega. Yayingira bizinensi ng’alina emyaka 20, ng’asuubula ngoye z’abambazi (designer clothes) ze yagulanga e Nairobi, Singapore, Thailand, Philippines, amawanga ga Buwarabu ne China.

Yalina ssente, kyokka okugaggawalira ddala yali ku nnyonyi ng’agenda Philippines n’asisinkana ku nnyonyi y’emu nnaggagga Nester Palo omu ku bannanyini Dynapharm. Palo yamukuba akalimi n’amuguza ebikolebwa kkampuni ye okwali eddagala omukyala ono lye yagulira muwala we Sherina eyalina akafuba.

Sherina yawona akafuba olwo Esther n’asalawo okuyingira Dynapharm ayambe okuwonya abalwadde b’akafuba. Kati ye dayirekita wa Dynapharm mu Afrika era kitunzi w’ekigimusa mu bulimi ekya kkampuni eyo ekya D1 Grow.

Mukazi ali ‘connected’ (soma konekitedi). Serene Suits yazizimba mu 2009, kyokka ebikonge biyita ku wooteeri endala ne bibeera eyo. Mu 2012 yakunga abakulembeze ba Afrika ne batongoza enkola y’okumalawo obutabanguko nga bayita mu kulwanyisa enjala n’obwavu nga bayita mu Byobulimi.

Dayirekita wa Afric Aid era mu 2014 yeegatta ne Salim Saleh ne Pasita Robert Kayanja ne bakuhhaanya obuyambi bwe baatwala e South Sudan.

RUTH NAMPINGA:

ONO musuubuzi wa ngatto. Ayogerwako ng’asinga okusuubula engatto z’abaana. Y’omu ku basooka okusuubula engatto z’ekika kya Claire (obugatto obusinga okwambalwa ku mikolo naddala emperekeze ku mbaga, abaana ababatizibwa oba okumala omugigi n’okussibwako emikono).

Wadde mugagga muvundu, yeeyisa ng’owaabulijjo. Mu maduuka ge akola n’abakozi okupanga engatto n’okuweereza bakasitoma. Asiba bokisi n’okutegeka amasa. Alina ebizimbe mu kibuga wakati.

Ye nnannyini kizimbe ekiriko Bbanka ya FINCA ku Ben Kiwanuka okumpi n’ewa Umar Mandera owa City Tyres. Ye nnannyini akeedi ku luguudo lwa Mackay okuli wooteeri ya Boston. Alina ekizimbe ekirala ku luguudo lwa Martin Road e Kampalamukadde okumpi ne City Oil .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...