TOP

Omwana alina obukazi n'obusajja

Added 20th September 2016

Mu bitundu by’omwana ebyekyama, mwalimu akantu akalinga akatulututtu akanene akaatandika okukula era oluvannyuma lw’emyezi ebiri kaali kavuddemu akasolo k’omusajja.

 Omwana ne bakadde be

Omwana ne bakadde be

Bya LAWRENCE KITATTA ne Ruth Nazziwa

JUSTINE Nakato bwe yatuuka okuzaala yakubawo omwana wa buwala. Ye ne bba Steven Ddembe Mbaziira 42, ne bajaganya olw’ekirabo kya “ssukaali” Katonda ky’abawadde.

Mu bitundu by’omwana ebyekyama, mwalimu akantu akalinga akatulututtu akanene akaatandika okukula era oluvannyuma lw’emyezi ebiri kaali kavuddemu akasolo k’omusajja.

Bbebi kati aweza emyezi mwenda. Bw’akunkumula omusulo tegukyayita mu bukyala wabula mu kasolo k’omusajja akazze nga kakula mpola, Katonda akola ebyamagero!

Omwana munyirivu nnyo. Talina wamuluma. Anywa bulungi n’okulya, azannya, yeebaka bulungi era akula ng’abaana abalala.

Abazadde b’omwana babeera naye e Nsambya- Keviina. Baamuzaalira mu Nagojje Health Centre e Mukono.

Nakato yategeezezza Bukedde nti yazaala bulungi. Ne bamusiibula oluvannyuma lw’ennaku bbiri. Jjajja w’omwana yali amunaaza ekyogero n’alaba ng’akantu akaali kazimbye bwali busajja.

Ekitegeeza omwana yalina ebitundu byombi- obukazi n’obusajja. Omwana baamuzzaayo ku kalwaliro gye baamuzaalira ne babasindika mu ddwaaliro eddene e Kawolo-Lugazi.

Omusawo yakebera omwana n’azuula ng’alina obukazi n’obusajja n’abawa ebbaluwa okumwongerayo e Mulago. Omusawo eyabakolako e Mulago yassa omukono ku bbaluwa ng’alaga nti ye Dr. Daniel.

Ebbaluwa y’omusawo eraga nti omwana mulenzi kubanga talina nnabaana era n’enkula y’ebintu ebisinziirwako okwawula omusajja ku mukazi byonna omwana ono alina bya kisajja. Kyokka ate ku ngulu endabika ye ya mwana muwala.

N’obusajja bwe butono nnyo ate bufubutukirayo mu bukazi. Talina nsigo z’abasajja (entula). Kati obusajja bwe buwanvuye era buliko n’akatuli mw’ayisa omusulo. Afuka bulungi.

Kyokka abazadde b’omwana bagamba nti Omusawo yabawa lipoota tebaddayo kumulaba. Bwe baddayo e Mulago tebaafuna abayamba.

Dr. Victoria Nakabuuka akulira ekitongole ky’abaana mu ddwaaliro e Nsambya yategeezezza nti omwana ow’ekika kino basooka kumukebera ne bakakasa ekikula kye ekituufu.

Bwe bazuula, bakebera kwe kyava. Olwo ne batandika okumujjanjaba okusinziira ku bye bazudde. Ssente ezetaagisa nazo zisinziira ku kye bazudde. Bw’aba yeetaaga kuba musajja bamukolera busajja oba mukazi bamukolera bukyala. Kyokka bakikola mu mitendera.

Abazadde b’omwana beetaaga ssente kwe batandikira. Batuukirire ku ssimu 0752577231 / 0786044457.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Putin owa Russia

Abakulembeze bayozaayozezza...

ABAKULEMBEZE b'amawanga bayozaayozezza Pulezidenti Museveni olw'okuddamu okulondebwa ku bwapulezidenti bwa Uganda....

Pulezidenti Museveni ng’ayogera eri ab’e Lyantonde eggulo.

Pulezidenti Museveni avudde...

PULEZIDENTI Museveni akomeddewo mu maanyi okuva mu makaage e Rwakitura gy'abadde okuva lwe yawangula akalulu okujja...

Erias Lukwago ng’amenyeka omuziki oluvannyuma lw’okuwangula obwa  Loodi Mmeeya ekisanja ekyokusatu.

Ebyewuunyisa mu kalulu ka K...

OKULONDA kwa Loodi Mmeeya ne bakkansala mu Kampala kubaddemu ebyewuunyisa, abalonzi bwe baalonze FDC Erias Lukwago)...

Irene Nanyanzi Mwebe owa NRM yawangudde Lukaya TC.

Aba NUP beefuze obwakkansala

OKULONDA bakkansala ab'ekibiina kya NUP baakwefuze. E Mukono mu magombolola gonna agakola disitulikiti eno okuli...

Omugenzi Omusumba John Baptist Kaggwa

Omusumba Kaggwa ebintu by'a...

KLEZIA efulumizza n'okulambika enteekateeka z'okuziika Omusumba w'e Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa eyafudde...